AKULIRA ofiisi ya Ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjati Hadijah Namyalo alabudde Bannayuganda abaafuna entandikwa okweggya mu bwavu era n’abasiima.
Namyalo yalambudde ebitundu by’e Luweero ne Kitukutwe mu disitulikiti y’e Wakiso abaaweebwa entandikwa y’okweggya mu bwavu mu February 2023 ng’ebintu bino byabaweebwa Pulezidenti Yoweri Museveni.
Yatandikidde ku kyalo Kitukutwe mu munisipali y’e Kira mu Wakiso, mu maka g’omwami Abdu Karim Wasswa Tamale. Ono yaweebwa enkoko 200 mu February 2023 n’emmere esobola okuliisa enkoko 400 n’okumusasulira omusawo eyali azijjanjaba.
Tamale asobodde okugaziya omulimu gwe ogw’obulunzi nga kati alina abantu bana b’awa emirimu. Tamale yategeezezza nti, buli luvannyuma lwa nnaku 35, afuna mu nkoko obukadde 12.
Hajjati Namyalo yeeyamye okuddamu okubasakira nga bwe yeetegeka okutandika okulunda enkoko z’amagi era n’amusuubiza okumusakira ekyuma ekikuba emmere y’enkoko.
Namyalo yeeyamye okutuusa ebisoomooza abalimi n’abalunzi abafuna ebintu okuva ewa Pulezidenti Museveni omuli bbeeyi y’emmere okuba waggulu, eddagala erigema enkoko n’obulungo bwe bateeka mu mmere y’enkoko okulaba nga bikka ku bbeeyi gattako n’akatale k’abalunda enkoko z’ennyama okubula.
Tamale yawadde Namyalo essanyu okulaba ng’asobodde okweyongera mu maaso mu byenfuna.
EYAWEEBWA DDULAAYA ATENDESE ABAKYALA 15 OKUKOLA ENVIIRI
Namyalo bwe yavudde e Kitukutwe yayolekedde Wobulenzi mu Luweero ku saluuni ya HK Beauty Salon mu Modern Zone. Ono yafuna ddulaaya bbiri mu nteekateeka ya ofiisi eno okuggya abantu mu bwavu era mu kiseera kino teyambye ye yekka kubanga asobodde okutendeka abakyala abalala 15, okuyiga okukola enviiri ne masaagi era kati nabo basobola okweyimirizaawo.
EYAFUNA ENKOKO 200 KATI AWEZA 1300
Lizi Wasswa, omutuuze w’oku kyalo Gala mu Katikkamu e Luweero yategeezezza Namyalo nti, yafuna enkoko z’ennyama 200, n’emmere ensawo 11, n’ebigenderako byonna kati mu kiseera kino alina enkoko 1,300. Era ng’oggyeeko buli kimu gattako ne ssente ezirabirira awaka we n’okuweera omwana we ng’omukyala asobola okufissa akakadde n’akalabako awo buli mwezi.
John Tandebwa naye w’e Gala mu Katikamu mu Luweero: Yafuna enkoko z’ennyama 200, n’ebigenderako mu 2023. Kyokka bwe yazirundamu emirundi esatu n’afuna kapito asobola okumuzza mu kulunda enkoko eng’anda z’alina kati ng’aweza 225 enkazi n’empanga 25.
EYAFUNA EMBUZI BBIRI AWEZA 20
Sula Kanyike ow’e Kigolooba Lutembe Katikamu mu Luweero: Namyalo yamuwa embuzi ez’olulyo bbiri enkazi emu n’ennume emu mu 2023, naye mu kiseera kino awezezza 20. Olw’okuba za lulyo yatunzeeko embuzi bbiri buli emu 500,000/- kubanga baziyaayaanira, kati lwaki sitendereza Museveni