KKAMPUNI ya Vision Group efulumya olupapuka kwa Bukedde, ewangudde enguleng’ekitongole ky’amawulire ekisinze ebirala byonna okusaka n’okuwandiika amawulire agawadde bannansi obukodyo ku ngeri y’okukuuma obutonde bw’ensi .
Engule eno abekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutonde bw’ensi mu ggwanga ekya NEMA baagikwasizza Munnamawulire Gerlad Tenywa ku lwa Vision Group. Tenywa munnamawulire omudundiivu akoze erinnya mu kuwandika amawulire ku butonde bw’ensi.
Tenywa yategeezezza nti kino kyayongeddeokumuzzaamu amaanyi era waakwongeran okusomesa bannansi nga ayita mu mawulire gamba ku ngeri omuntu gyoyinza okwongera omutindo ku kasasiro okumufunamu ssente n’ebirala.
Ebitongole ebirala bingi okwabadde ekya KCCA , NARO n’amasomero ga UPE nabo baasiimidwa olw’obuyiiya mu kukuuma obutonde bw’ensi. Minista avunaanyizibwa ku mazzi n’obutonde bw’ensi, Kahinda Otafire yeebaziza NEMA olw’okuvaayo n’enteekateeka eno ey’okusiima abo abaliko ettooffaali lye batadde ku kulaba nga obutonde bw’ensi tebutaagulwataagulwa Yayongedde okuwera nti buli yeesenza mu ntobazzi waakusengulwayo era tewali muntu yenna ajja kutirwa ku liiso. Akulira ekitongole kya NEMA, Dr. Barirega Akankwasa yagambye nti buli anaddamu okwesenza mu ntobazzi nga oggyeeko eky’okusengulwamu bajja na kuggulwangako emisango.
Akulira bbanka enkulu ey’eggwanga Dr. Michael Atingi-Ego yagambye nti enkyukakyuka y’obudde ekosezza nnyo obutonde bw’ensi ne kireetera abalimi okukosebwa okuli n’amataba