AKULIRA ekitongole kya Microhaem Scientifics, ekikola obuuma obukebera endwadde ez’enjawulo n’eddagala asuubizza okudduukirira essomero lya Comprehensive Secondary School erisangibwa e Ntebe.
Ono wa kukwatagana ne Entebbe Rotary Club okulaba nga batumbula ebyenjigiriza mu ssomero lino n’okulinnyisaku mutindo.
Roger Ssembeguya yatuuziddwa nga Pulezidenti owookusatu ng’azze mu bigere bya Eva Mugidde.
Ssembeguya yagambye nti, oluvannyuma lw’okulambula essomero lino, baazuula nga liri mu mbeera mbi nga teririna na kaabuyonjo. Yagambye nti, lirina abaana abasukka mu 1,000 kyokka bonna nga bakozesa kaabuyonjo emu, n’ategeeza nti, bagenda kusooka kulizimbira kaabuyonjo ez’omulembe.
Dr. Akwesigye yasiimye ebikolebwa bannalotale ne yeeyama okukwatirako aba Entebbe Base okubbulula essomero lino mu byonna abayizi bye beetaaga. Yawaddekiraabu eno obukadde 10.