Amawulire

Amasaza ga Buganda geebugira mpaka z'amaato

Ab'amasaza ga Buganda bali mu kwebugira mpaka z’amaato ga Buganda eza Buganda Royal  Regatta, ez’omwaka guno.

Abantu nga bavuga amaato
By: Vivien Nakitende, Journalist @New Vision

Ab'amasaza ga Buganda bali mu kwebugira mpaka z’amaato ga Buganda eza Buganda Royal  Regatta, ez’omwaka guno.
Ku mulundi guno zigenda kuyindira ku mwalo e Nakiwogo mu munisipaali y’e Ntebbe, nga zitandika   olw'omukaaga lwa wiiki eno (27/06/2026) ate ez’akamalirizo zibeewo nga August 22 ku mwalo e Bunjakko mu Mpigi, nga zitandise na bavuzi kwegezaamu.

 Yinginiya Ben Immanuel Misagga, eyalondebwa Ssabasajja okubeera ssentebe w’empaka zino agambye nti, ku luno bakomyewo na maanyi  era abalabi baakulaba eky’enjawulo naabasaba okubaayo mu bungi ku lw’omukaaga.

Abantu nga babonga amaato

Abantu nga babonga amaato


Agamba nti, zaakwetabwamu amasaza ga Buganda gonna 18 bavuganye era omuwanguzi ekirabo waakukwasaako ebiri. Abaneetaba mu mpaka zino basoose na kwegezaamu ku mwalo e Nakiwogo okugezesa amaato gaabwe  batuuke  olw’omukaaga nga bali kawerette.
N’asuubiza obutaswaza Ssabasajja eyamwesigisa obwa ssentebe bw’empaka zino, nti agenda kuzituusa ku mutindo ogwegombesa nga bwolaba mu mawanga amalala okuli; Scotland, China, Spain, Italy n’amalala awali empaka bweziti, ate zigatte abantu ba Buganda ne bannayuganda bonna okutwaliza awamu.

Eng. Misagga ng'ayogera ku nteekateeka z'empaka z'amaato

Eng. Misagga ng'ayogera ku nteekateeka z'empaka z'amaato

Omu ku bakalabalaba b’empaka zino Batenga Nakisozi, abaddewo okulondoola engeri abavuzi gyebagezesa obusobozi bwabwe agambye nti, boolesezza bulungi era babasuubiramu buwanguzi, n’alambulula  amakubo agagenda okukozesebwa amaato ku nnyanja  olunaku lw’empaka (olw’omukaaga), n’ategeeza nti buli kimu kiri bulungi.  Baakwetaba mu mpaka za  mmita 500 ne 1,000 nga ku mulundi guno mulimu n’abakazi abagenda okuzeetabamu.

Tags: