Ab'amasaza ga Buganda bali mu kwebugira mpaka z’amaato ga Buganda eza Buganda Royal Regatta, ez’omwaka guno.
Ku mulundi guno zigenda kuyindira ku mwalo e Nakiwogo mu munisipaali y’e Ntebbe, nga zitandika olw'omukaaga lwa wiiki eno (27/06/2026) ate ez’akamalirizo zibeewo nga August 22 ku mwalo e Bunjakko mu Mpigi, nga zitandise na bavuzi kwegezaamu.

Abantu nga babonga amaato

Eng. Misagga ng'ayogera ku nteekateeka z'empaka z'amaato
Omu ku bakalabalaba b’empaka zino Batenga Nakisozi, abaddewo okulondoola engeri abavuzi gyebagezesa obusobozi bwabwe agambye nti, boolesezza bulungi era babasuubiramu buwanguzi, n’alambulula amakubo agagenda okukozesebwa amaato ku nnyanja olunaku lw’empaka (olw’omukaaga), n’ategeeza nti buli kimu kiri bulungi. Baakwetaba mu mpaka za mmita 500 ne 1,000 nga ku mulundi guno mulimu n’abakazi abagenda okuzeetabamu.