Amawulire

Abakolera n’abasula wansi wa layini z’amasannyalaze ag’ebyuma basattira

ABANTU abaazimba wansi wa layini z’amasannyalaze bali mu kusattira oluvannyumalw’ekitongole kya UETCL okubalagira okwamuka amayumba gaabwe mu bwangu kisobole okugaddaabiriza nga tekifunye kutaataaganyizibwa Ab’ekitongole kya Uganda

Ekimu ku bifo abantu nga baazimba wansi wa waya z’amasannyalaze g’ebyuma e Mulago.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABANTU abaazimba wansi wa layini z’amasannyalaze bali mu kusattira oluvannyuma
lw’ekitongole kya UETCL okubalagira okwamuka amayumba gaabwe mu bwangu kisobole okugaddaabiriza nga tekifunye kutaataaganyizibwa Ab’ekitongole kya Uganda

Electricity Transmission Company Limited (UETCL) be baayisizza ekiragiro ku basula,  abakolera,  abalimira n’okulundira wansi w’amasannyalaze g’ebyuma okwamuka ebif  ebyo mu bwangu basobole okuddabiriza amasannyalaze gano nga baggyamu waya ezikaddiye, ebyuma n’kutema emiti egiriraanye waya. Ebitundu ebigenda okukosebwa biri okusinga mu Kampala, Mukono ne Wakiso. Mu Kampala kuliko; Namungoona Zooni C , Zooni D, Dobi Zooni, Ssebina, Kiggundu nga zino ziri mu Kawempe, Old Kira Road, Kawaala, Masanafu, Kiwalimu, Ndeeba, Lugala n’ebirala ate e Wakiso kuliko; Kyaliwajjala Zooni B, Naalya, Mbalwa, Bukoto A, Kiwanga, Thermal Plant Area, Kannyogoga, Nakaseeta ne Sese/. E Mukono kuliko; Misindye  Nazarene,MisindyeNamwoya, Nsanvu, Nama, Luwunga  ne Luwala.
James Muwanga ow’e Kawaala yagambye nti enteekateeka no egenda kukosa abantu
bangi kuba abamu baagula poloti wansi w’amasannyalaze gano mu butamanya nga ne mu kiseera kino waliwo abagezigezi abatadde  amayumba ku katale okugaguza abatannategeera nteekateeka era batunda ku layisi. Ssentebe wa Dobi Zooni e
Kawempe, Paul Mukwaya yagambye nti, aba UETCL bazze balabula abantu abali wansi wa waya z’amasannyalaze ag’ebyuma okuvaawo ne bikoma awo nga ku luno bazzeemu ne bakuba n’enkiiko mu bitundu mwe gayita okunoonya gye badda basobole okuddaabiriza.
Yagambye nti, abatuuze balina okugondera ebiragiro okwewala emivuyo. Ekirungi balabuddwa ate nga si gwe mulundi ogusoose nga babateegeza ku nsonga eno.  Omwogezi w’ekitongole kya UETCL, Muhammad Lubogo yategeezezza nti, omulimu gw’okuddaabiriza amasannyalaze gano agatambulira ku byuma
gwatandika mu April nga basuubira  okumaliriza mu August w’omwaka guno.
Yagasseeko nti, abantuabakolera, abaazimba wansi  w’ebyuma bino baalagiddwa okusengukawo mu bwangu kuba amasannyalaze ga maanyi galina  olts 132 ku 220. Ku nsonga y’okuliyirira abantu yagambye nti, teri agenda kusasulwa kuba
amasannyalaze we gayita kifo kya Uganda Electricity Transmission Company ltd utcel

Tags: