Amawulire

Omulabirizi wa Ankole alaze by'akoze mu myaka 16

OMULABIRIZI wa Ankole, Dr. Sheldon Mwesigwa ayanjudde ebimu ku bikoleddwa mu myaka 16 gy'aweereza n'agamba nti wadde agenda kuwummula, waakufa ngamusanyufu.

Omulabirizi Mwesigwa ne bannaddiini abalala ku mukolo gw'okukuza olunaku lwa Yakobo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMULABIRIZI wa Ankole, Dr. Sheldon Mwesigwa ayanjudde ebimu ku bikoleddwa mu myaka 16 gy'aweereza n'agamba nti wadde agenda kuwummula, waakufa nga
musanyufu.

Mu kiseera kye kimu, omubaka wa Rwampara mu Palamenti, Amos  Kankunda atenderezza obukozi bwa Dr. Mwesigwa n'agamba nti, akyusizza ekifaananyi ky'Obulabirizi.
Bino byabadde mu Lutikko y'Obulabirizi bwa Ankole eya St. James ku mukolo gw'okukuza olunaku lwa Yakobo era omubaka ankunda ye yabadde omugenyi
omukulu.
Kankunda yagambye nti, okuva Dr. Mwesigwa bwe yatuuzibwa ku ntebe,  akoze bingi omuli okusomesa bannaddiini n'Abakristaayo okulwanyisa obwavu.
Omulabirizi Mwesigwa yasabye omubaka Kankunda okujjukiza Pulezidenti Museveni bye yasuubiza abantu b'e Mbarara omuli ensimbi z'abakyala obukadde 100 ez'okwekulaakulanya n'okubakolera amakubo.

Tags: