Amawulire

Ekibiina ekigatta bannamateeka bamalirivu okulwanirira enfuga y'amateeka mu ggwanga

Ekibiina ekigatta bannamateeka bamalirivu okulwanirira enfuga y'amateeka mu ggwanga 

Akulira ekibiina ekigatta Bannamateeka e Kenya Charles Kanjama ng'ayogera ku kitebe kya Uganda Law Society mu Kampala. Ow'okubiri ku kkono te Antony Asiimwe n'Omubaka omukyala ow'ekibuga kye Soroti
By: Emmanuel Ssekaggo, Journalist @New Vision

Ekibiina ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society kiweze nga bwekigenda okwongera amaanyi mu kulwanirira enfuga ey’amateeka wamu eggwanga lisobole okutambula obulungi.
Bino byogeddwa amyuka Pulezidenti w’ekibiina kino Anthony Asiimwe bweyabadde mu lukungaana lwa Bannawulire olw’okwanjulira Bannayuganda mu butongole ebikujjuko by’ekibiina kino eby’okuweza emyaka 70 egigenda okujjula mu December w’omwaka guno.

Amyuuka Pulezidenti wa Uganda Law Society Anthony Asiimwe ng'ayogera eri Bannamawulire. Amuddiridde ku kkono ye Pulezodenti w'ekibiina ekigatta Bannamateeka e Kenya Charles Kanjama

Amyuuka Pulezidenti wa Uganda Law Society Anthony Asiimwe ng'ayogera eri Bannamawulire. Amuddiridde ku kkono ye Pulezodenti w'ekibiina ekigatta Bannamateeka e Kenya Charles Kanjama

Asiimwe yagambye nti ekibiina kino kigenze okuweza emyaka 70 ng’eggwanga lijjudde okusoomozebwa mu by’amateeka nga waliwo ne balooya abatulugunyizibwa olw’okuwolerereza abantu babwe mu misango egimu kyokka n’akakasa nti abakola kino tebagenda kubajja ku mulamwa ogw’okulwanirira obwenkanya mu ggwanga.
Omukolo gwegumu gwetabiddwako n’akulira ekibiina kya Bannamateeka e Kenya Charles Kanjama eyasabye Bannamateeka mu nsi eziri mu buvanjuba bwa Africa okufuba okunyweza enkola esobozesa Bannamateeka mu mawanga gano okusalanga ensalo nebawolereza n’abantu nga tebafunye kusoomozebwa kwonna.

Omubaka wa Palamenti ow'ekibuga kye Soroti Anna Adeke Ebaju ng'ayogera ku kitebe kya Uganda Law Society. Ow'okubiri ku kkono ye Pulezidenti w'ekibiina ekigatta Bannamateeka e Kenya Charles Kanjama ate wakati ye Anthony Asiimwe

Yavumiridde embeera eyasiyisddwamu Munnamateeka ow’erinnya mu ggwanga lya Kenya Martha Marua okugaanibwa okuyingira mu ggwanga n’agamba nti eggwanga amawanga ng’obuvanjuba bwa Africa bwegaba ga kwegatta mu by’obufuzi n’ebyenfuna, Galina n’okwegatta mu by’amateeka nga tewali munnamateeka alemesebwa kuwolereza muntu mu mawanga gano.
Omubaka wa Palamenti ow’ekibuga kye Soroti Anna Ebaju Adeke yasabye abakyala okwongera okwenyigira mu kulwanirira eddembe ly’obuntu n’enfuga ey’amateeka awatali kwetiiririra nga bwebaanakola kino ensi ejja kwongera okubaamu emirembe.
Tags: