BAMAAMA abakozesa eddwaaliro lya Kasangati Health Centre IV bafunye akamwenyumwenyu ku matama oluvannyuma lw’okubazimbira woodi omukuumibwa abaana abazaalibwa nga tebannetuuka (Neonatal ward).
Ekifo kino kyazimbiddwa bannalotale okuva mu lotale club ye Kasangati ne Bulindo nga kyatereddwamu ebikozesebwa byonna okuli ebitanda n’ebyuma eby’omulembe ebiyamba abaana bano okubeerawo n’okukula.

Bannalotale nga baggulawo woodi
Akulira eddwaaliro lino Dr. Joseline Akugizibwe bwe yabadde akwasibwa ekifo kino, yalaze okusomozebwa kwe baabadde bayitamu n’engeri ba maama gye baabadde bafiirwamu abaana baabwe abazaalibwa nga tebannatuuka olw’obutabeerawo kifo webalabiririrwa.
Yagambye nti buli mwaka bazaalisa ba maama abasoba mu 4,000 ekitegeza ng’omwezi be ba maama abali wakati wa 450 ne 500, kyokka ng’abamu ku bano babadde bafiirwa abaana baabwe naddala ababeera tebanatuuka.

Bannalotale nga batongoza woodi
Dr. Akunguzibwe yategeezezza nti abaana ababadde bazaalibwa mu mbeera eno babadde basanga okusomozebwa okubatambuza okubatwala e Kawempe ewali ebyuma ekibadde kivaako nabamu okufiirwa obulamu bwabwe.
Yeebazizza Bannalotale olw'okubaddukirira kyokka n’alaga okusomozebwa olw’ebula ly’abasawo abakugu abagenda okuddukanya ekifo kino n’ebyuma ebyatereddwamu n’asaba Gavumenti okubaddukirira.
Ba pulezidenti ba Lotale zino okuli Andrew Kisitu Tebyasa owa Kasangati ne Paul Lubega ow'e Bulindo bagamba nti okutumbula eby’obulamu y’emu ku nnyingo kwe batambulira naddala ku nsonga ezikwata ku Bamaama n’abaana.

Bannalotale nga batongoza woodi
Tebyasa yagambye nti mu kunoonyereza kwe bakola mu kitundu kino, baakizuula ng’eddwaaliro lino lifuna ba maama bangi abazaalirawo kyokka nga tebalina woodi y’abaana bazaalibwa nga tebanatuuka ne basalawo okwesondamu ssente ezikoze omulimu guno.
Yagambye nti omulimu gwonna gwamazeewo ssente ezisoba mu bukadde 120, kyokka nga bayambiddwako ebitongole okuli Centenary Bank n'ekitongole kya ATC.
Gavana wa Disitulikiti 9213, Geoffrey Martin Kitaakule yalaze obwetaavu bw’okutaasa obulamu bwa baana abato ku lwenkulakulaana y’eggwanga neyebazza bannalotale olw’omulimu guno.
Kkamisona avunaanyizibwa ku by'okuzaala mu ministule y'ebyobulamu Dr. Richard Mugahi yeyamye nga gavumenti bwegenda okwongera okuwagira okuwagira amalwaliro agali ku mutendera guno era nga bakuweereza abakugu mu bwangu okusobozesa ekifo kino okutandika okukozesebwa.

Bannalotale nga batongoza woodi
Yeebazizza obukulembeze bwa Lotale bulijjo olw’okukwatizangako Gavumenti mu bintu ebyenjawulo naddala ebikwata ku bantu babulijjo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Oluvannyuma Dr. Ruth Grace Kakoba okuva mu ministule y'ebyobulamu yawadde abasawo be Kasangati omusomo ku nkozesa y’ebyuma ebyataleddwa mu woodi eno nga mu kiseera kino eyatereddwamu ebitanda 10.