Amawulire

IRAN EZZEEMU OKUGGALA AKAGOLOMOLO:Entabwe evudde ku Yisirayiri kwongera kutta bantu mu Lebanon

IRAN ezzeemu okuggala akagolomolo k’e Hormuz ke babadde baggula lwa Yisirayiri kutyoboola ndagaano eyaakassibwako emikono n’esigala ng’etirimbula abantu ba bulijjo mu Lebanon.

Essengejjero ly’amafuta eryakubiddwa. Mu katono ye Putin.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MIDDLE EAST
IRAN ezzeemu okuggala akagolomolo k’e Hormuz ke babadde baggula lwa Yisirayiri kutyoboola ndagaano eyaakassibwako emikono n’esigala ng’etirimbula abantu ba bulijjo mu Lebanon.

Amagye ga Iran aga Islamic Revolutionary Guard Corps, gaafulumizza ekiwandiiko ne galangirira nti akagolomolo bazzeemu okukaggala, ng’entabwe yavudde ku Yisirayiri
kugaana okukomya olutalo lw’e Lebanon.
Okusinziira ku nyingo esooka ey’endagaano America gye yakoze ne Iran, entalo zonna  eziri mu kitundu ekya Middle East ne Gulf zirina okuyimirira naddala Yisirayiri okukomya ennumba zaayo mu Lebanon, gy’eri mu kulwanagana ne bamasinale ba Iran aba Hezbollah.
Kinajjukirwa nti olutalo luno America lwe yatuuma ‘Operation Epic Fury’ yalugendamu ng’eri wamu ne Yisirayiri, era wadde mu nteeseganya Yisirayiri teyabaddeyo, naye ebyavuddeyo bigikwatako butereevu kubanga America ye kirimaanyi waayo agikuuma mu buli kimu.
Olutalo bwe lwatandika, bamasinale ba Iran abasinziira e Lebanon aba Hezbollah, nabo baalweyungamu butereevu ne batandika okunyugunya emizinga munda mu Yisirayiri, nga balwanirako Iran.
Yisirayiri nayo yabaanukuza maanyi, era okulwanagana mu bukiikaddyo bwa Lebanon Hezbollah gyesinziira kubadde kwa maanyi ennaku zino. Iran yagenze okutabuka, kyaddiridde Yisirayiri okukola obulumbaganyi u nfo z’aba Hezbollah  eziwera 80, n’ettiramu abantu 47 okusinziira ku minisitule ya Lebanon  ey’ebyobulamu.Obulumbaganyi buno Yisirayiri yabukoze mu kiseera nga Iran ne America batadde emikono ku ndagaano ey’emirembe.
Okusinziira ku mukutu gw’amawulire ogwa Mehr ogukolera mu Iran, amagye gaalagidde emmeeri zonna obutetantala kusala mu kagolomolo, era emmeeri ezinagaana
zaakukubwa.
Wabula omumyuka wa Pulezidenti wa America, David James Vance, yategeezezza omukutu gwa Fox News nti wadde Iran yayogedde bw’etyo, naye okusinziira ku mawulire America g’efuna, emmeeri zitambula bulungi mu kagolomolo awatali buzibu bwonna. Omukutu gwa Fars News Agency wagambye nti amagye ga Iran gaalabudde nti okuggala akagolomolo ly’ekkubo erisoose mu kaweefube w’okukomya ejjoogo lya Yisirayiri, era bw’eneegenda mu maaso n’okukuba basajja baayo aba Hezbollah, Iran egenda kwongeramu ggiya endala, omuli n’okulwanagana obutereevu ne Yisirayiri.
Omwogezi wa Minisitule ya Iran ey’ensonga ez’ebweru Esmail Baghaei yagambye nti
America y’erina obuvunaanyizibwa obw’enkomeredde okukaka Yisirayiri okusirisa emmundu, era bwe kigirema yo Iran yakukyekolerako. Omuwabuzi wa Ayatollah ku nsonga z’ebyekijaasi, Mohsen Rezaei yagambye nti America bw’eneeremwa okussa mu
nkola bye bakkaanyizzaako mu ndagaano, bo nga baggala akagolomolo awatali kuyisa budde, kubanga baakizudde nti America lutalo lw’ewulira amangu lwe lw’ebyenfuna.
ENTEESEGANYA ZITANDISE E SWITZERLAND
Enteeseganya wakati wa America ne Iran zizzeemu buto mu ggwanga lya Switzerland nga ttiimu ya Iran eyatuuse kuliko sipiika wa Palamenti Mohammad Bagher Ghalibaf,
minisita w’ensonga z’ebweru Seyed Abbas Araghchi, omumyuka w’akulira akakiiko akavunaanyizibwa ku by’obutebenkevu mu Iran Ali Bagheri Kani, gavana wa bbanka
enkulu eya Iran Abdolnaser Hemmati, n’abalala. Ttiimu ya America yakulembeddwa omumyuka wa Pulezidenti D.J Vance, mukoddomi wa Trump, Jared Kushner n’omubaka wa Trump ow’enjawulo mu kyondo kya Buwarabu Steve Witkoff. Pakistan ne Qatar, ge mawanga agagenda okutabaganya enjuyi zombi. Enteeseganya zino zigendab kwogera ku nsonga ya nukiriya mu bugazi, ssente za Iran ezaateekebwako  envumbo, bamasinale ba Iran abatawaanya Yisirayiri okuva mu uli nsonda n’ebirala.

Tags: