Babbulaaza b’ekibiina ky’obunnaddiini ekya Brothers of Christian Instruction, abamanyiddwa nga Babbulaaza b’e Kisubi, batandise ebikujjuko by’ekijaguzo ky’emyaka 100 bukya batandika butume bwabwe mu Uganda.
Abaana bakuba ebivuga

Abaana bafuuwa emirere okusanyusa abangenyi
Mukiseera kino amasomero ga Babbulaaza gonna gali mukukuza ekijaguzo kino, era nga aba Caltec Academy Makerere bebamu kubakyasembyeyo okujaguza. Omukolo gwabwe gwabadde ku ssomero ku Lwomukaaga.
Missa ey’okwebaza y’akulembeddwa omusigire wa Ssabasumba owa Vikariyeeti y’e Ntebe, Fr. Gerald Mpanju, eyatenderezza ennyo Babbulaaza olw’okkulaakulanya eby’enjigiriza ngabayita mukusomesa n’okugunjuala abaana n’abavubuka.
Omumyuka wa Ssabakrisu wa Uganda, Anthony Mateega naye y’asiimye Babbulaaza olw’okwemaliza Katonda, n’okwagala Klezia n’ekibiina kyabwe.

Abaana nga bawaayo ebirabo
Bro. Aizire y’asinzidde kumukolo guno n’ategeeza nga ekibiina bwekiri munteekateeka y’okuzimba ekizmbe eky’omulembe, Babbulaaza abakadde n’abalwadde mwebanasuzibwanga, n’okulabirirwa. Y’ategeezezza nti kino ky’ekijja okuba ekjjukizo ky’ekyasa ky’okujja kwa Babbulaaza, n’asaba Abakristu n’abantu abalala ab’omwoyo omulungi okuwaayo ensimbi kumulimo guno.
Omukulu w’essomero, Bro. Constantino Matovu, ku lw’essomero y’awaddeyo obukadde bw’ensimbi za Uganda 11, obwasondeddwa abayizi, abasomesa, abazadde, abakozi, n’ab’emikwano.
Omukolo gw’atambulidde kunulanwa ogugamba nti: Tujjukira, Tujaguza Tukkiriza.