Katikkiro Charles Peter Mayiga asiimye Klezia Katolika, n’abaddukanya essomero lya Trinity College Nabbingo olw’okukulaakulanya eggwanga n’ensi ngabayita mukusomesa n’okuyigiriza omwana omuwala empisa ennungi ez’obugunjufu. Yasiimye nnyo Omwepiskoopi omuminsane, ow’ekibiina kyaba White Fathers, Edward Michaud, olw’okwolesebwa kweyafuna, n’atandikawo essomero lino mu mwaka 1942.
Omusumba we Masaka Serverus Jjumba ng'asabira abaana 
Y’abadde kumukolo ogw’okujaguza emyaka 84 byukya essomero lino litandikibwawo. Omukolo gwabadde ku ssomero e Nabbingo, ku Luguudo lw’e Masaka, mu disitulikjti y’e Wakiso ku Ssande nga June 14.

Abaana nga basanyusa abagenyi
Omwepiskoopi w’e Masaka, Serverus Jjumba, eyayimbye mmisa, naye yeebazizza abakulembeze b’essomero lino olw’omulimu ogw’ettendo gwebakola, n’abasaba okuba abaana abalungi abatya Katonda, abakolerera emirembe, abafa kubantu bannaabwe, era abaagala ensi yaabwe.
Omwepiskoopi Jjumba mu mmisa eno y’aweereddemu abayizi 27 Ssakramentu lya Confirmansio, nabalala n’abawa Komunyo embereberye.

Katikkiro ng'ali ne bannaddiini
Omukulu w’essomero, Immaculate Lwanga yeebazizza aba famire ya Stanislaus Mugwanya, n’addala omugenzi Mulo, olw’okugabira Klezia ettaka essomero lino kweritudde. Y’akakasizza abaabaddewo nti omutindo gw’eby’enjigiriza, n’ebitone mussomero lino, gulinnye nnyo era gwakwongera okulinnya, Y’ayongedde okubakakasa nti klezia y’essomero linom mukiseera kino eri mukuzimbibwa, ngayaautuuza abayizi 3,000, omwaka ogujja wegunaggweerako ejja kuba ewedde.
Omukolo gwetabiddwako Abasaserdooti abawerako, okw’abadde Msgr, Charles Kasibante, omulyoyi w’emyoyo gy’abayizi Fr, John Chrysostom Kiwanuka, Faaza Dr. Ambrose Bwangatto, Fr. Mark Richard Ssajjabbi, n’abalala.

Abaana nga basanyusa abagenyi
Omukolo era gwetabiddwako abanene okwabadde Omutaka Namwama, omukulu Ssebwana, Owek. Coltilda nakate Kikomeko, abakulembeze aba gavumenti eya wakati, n’abakungu ba ministitule y’eby’enjigiriza.
Emikolo nga tegyinnatandika, Katikkiro Mayiga y’atongozza omulimo gw’okuzimba ggeeti y’essomero lino empya, ate Omwepiskoopi Jjumba n’aguwa omukisa.