Amawulire

Ssaabasumba Semogerere atenderezza faaza Viatori Muvunyi

SSAABASUMBA w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paulo Ssemogerere atenderezza Omusaserdooti we Faaza Viatori Muvunyi olw’emirimo emirungi  gy’akoledde Klezia Katolika mu bbanga ettono ennyo, ery’emyaka 4 gyokka gy’amaze mu Busaserdooti.

Faaza Viatori
By: Mathias Mazinga, Journalist @New Vision

SSAABASUMBA w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paulo Ssemogerere atenderezza Omusaserdooti we Faaza Viatori Muvunyi olw’emirimo emirungi  gy’akoledde Klezia Katolika mu bbanga ettono ennyo, ery’emyaka 4 gyokka gy’amaze mu Busaserdooti.

Ssabasumba yeyakulembeddemu mmisa ey’okusiibula omugenzi Fr. Viatori, ey’aziikddwa mu limbo y’Abasaserdoot b’essaza ekkulu ery’e Kampala, ku Seminario e Kisubi, ku Lwokubiri nga June 23, 2026.

Okusabira omubiri gwa Faaza

Okusabira omubiri gwa Faaza

Bweyabadde ayigiriza y’agambye nti Faaza Viatori abadde Musaserdooti ajjudde okukkiriza, ng’ayagala Katonda we, era nga tata kwegayirira n’akwebuulirira,  ate nga bw’aba akulembeddemu mmisa, awa enjigiriza ennungi, ate nga by’ayigiriza aba abiteeseteese bulungi.

 “Faaza Viatori afiirridde ku myaka mimpi, naye twebaza Katonda ni emirimo gye agyikoze bulungi. Abadde ajjudde okukkiriza. Buli kiseera abadde agenda mu Klezia neyeegayirira mungeri ey’enjawulo. Ate abadde ayagala nnyo Maama Maria,” Ssabasumba bweyategeezezza,

Yeebazizza  abazadde olw’okumugunjula obulungi, ate n’okumuddiza Katonda n’aweereza Klezia.sSAA

Ssenkulu wa Seminario ya Alokulum, Fr. Joseph Ssekannyo y’agambye nti Faaza Viatori abadde akola emirimo gye n’essanyu, n’obumalirivu, ate n’okukkiriza, era nga ebbanga ettono ennyo ly’amaze mu Seminario eno, eritawezezza na mwaka, alese omukululo ogw’amaanyi.

Mukulu w’omugenzi, Joseph, yagambye nti mutoowe abadde ayagala nnyo okusoma, era nga emabegako yamutegeeza ngabweyali agenda okusoma amateeka.

Okuganzika ebimuli ku keesi ya Faaza

Okuganzika ebimuli ku keesi ya Faaza

Ebitonotono ku Faaza Viatori

Okusinziira ku Cansala Fr. Dr. Pius Male, Fr. Viatori Muvunyi y’azaalibwa nga July 17, 1992. Bazadde be, Margaret Nankya n’omugenzi Elias Bakina baabeeranga Makindye, kyokka oluvannyuma baavaayo nebasenga e Kiziba.

Yasomera Luwafu Parents PS (Makindye), Crested Crane SSS Makindye, Sacred Heart Minor Seminary Mubende (A-Level), Alokulum National Major Seminary, Gulu (Philosophia) ne St. Mary’s National Seminary Ggaba (Theologia).

Obusaserdooti y’abufunira Lubaga nga August 13, 2022, nga bwamuweebwa Ssabasumba Paulo Ssemogerere. Yakolerako e Naggulu, n’e Mitala-Maria, nga omubeezi w’omukulu w’ekifo.

Omwaka oguwedde, mu August, Abepiskoopi ba Uganda baamulonda okubeera omugunjuzi, era omusomesa w’Olugereeki, Eby’awandiikibwa Ebitukuvu, ne Philosophia ow’amakulu (Logic).

ABakungubazi nga basitudde omubiri gwa faaza

ABakungubazi nga basitudde omubiri gwa faaza

Wabula omwaka guno ngagutandika, y’atandika okulwaala, era n’aweebwa oluwummula asobole okujjanjabibwa. Abadde abeera wa Ssabasumba Ssemogerere e Lubaga, ng’amuyambako ku mirimo, ate ngabw’afuna obujjanjabi.

 Abadde alabika ng’ateredde, era ng’akisuubirwa nti ekiseera kyonna addayo mu Seminario akakkalabye emirimo, kyokka ab’omumaka ga Ssabasumba ky’ababuseeko, munnaabwe ono bweyavudde okusoma mmisa ku Ssande (nga June 21), n’agenda okuwummulako mu kisenge kye, kyokka n’attaddamu kufuluma. Baamulinze okulya eky’eggulo ngatalabikako, oluvannyuma omu kubo kwekugenda amukyeekingeko mu kisenge kye,  kyokka n’asanga nga mufu.

Faaza Viatori y’akungubagiddwa abantu bangi, omwabadde  Omubaka wa Paapa Ssabasumba Dr. Augustne Kasujja, n’akuuma ekitebe ky’Omubaka wa Paapa e Mbuya, Msgr. Georges Kwami Kouwonou

Tags: