GAVUMENTI eyanukudde okulaajana kw'abatuuze mu kibuga Jinja bw'erangiridde enguudo z'egenda okukola n'okuddaabiriza nga zikubibwa kkoolaasi omwaka guno.
Mu zigenda okukubibwa kkoolaasi mu Southern Division, mwe muli olwakolebwa okukendeeza ku mugotteko, nga luyitira mu kitundu ky’amakolero. Luno luva ku Dunlop okutuuka ku Steek Rolling Mill (Walukuba/MaseseRd), oluyita ku luguudo okusangibwa 'hard ware' ezisinga obungi mu Jinja (Oboja Rd), Kirinya Rd, Owen Rd, ne Nile Crescent.
Mu Jinja City Nothern Division, waliyo Wanyama Rd, olugenda okuddamu okukolebwa nga lukubwa kkoolaasi, okutuukira ddala ku lugenda e Wakitaka, n'olwa Daliya Rd. mu Budumbuli East.
Omukungu atwala Jinja City mu by’enguudo, Ying. Charles Mugweri, yategeezezza Bukedde mu mboozi ey'akafubo nti, ensimbi ezigenda okukola enguudo zino zigenda kuva mu kitongole kya Banka y’ensi yonna mu USMID ate endala zive mu Gavumenti eya wakati.
Wabula abatuuze balaze obwennyamivu olw'enguudo ezimu obutafiibwako. Baanokoddeyo olwa; Sheikh Kamegi Rd, olusangibwa mu Budhumbuli West mu School Zooni, olwamenyeka ebigoma, kyokka nga na buli kati teruddaabirizibwanga.
Ku nsonga eno, Ying. Mugweri yategeezezza Bukedde nti, bakola ekisoboka okulaba ng'oluguudo luno, luddaabirizibwa amangu ddala ng'ensimbi zifunise kubanga lwe lumu ku nguudo eziteeredwaako amaaso.