GYABADDE miranga na biwoobe ku kyalo Budhebela e Mayuge, omwana ow'emyaka 6 bwe yasangiddwa ng'atugiddwa.
James Abitanaye abadde asoma P1 ku Sarah Bright Academy, baabadde bamutumye okutwala essimu kitaawe okugicaajinga n'agwa mu batemu.
Omulambo gwasangiddwa nga gusuuliddwa mu kiyumba ekitannaggwa.
Nnyina, Sarah Naigaga yagambye nti, yamutumye ku makya ku ssaawa 1:30 kyokka baakanze kumulinda nga buteerere.
Kitaawe w'omugenzi, Alex Kayima olwafunye amawulire g'okuttibwa kwa mutabani we, yazirise n'addusibwa mu ddwaaliro nga tamanyi biri ku nsi! Kayima akola nga 'cashier' mu Opportunity Bank ku ttabi ly’e Mayuge.
Ssentebe w'ekyalo kino, Waiswa Kabangala akubirizza abazadde okufaayo ku baana naddala mu bitundu ebirimu ebiyumba ebitannaggwa.
Poliisi yazze n'embwa ezikonga olusu n'esibira mu maka g'omutuuze omu bw'etyo n'etuula.
Owa poliisi ataayagadde kumwatuukiriza mannya kino yakitapuse nti, abatemu olwatuuse mu maka gano, ne balinnya boda boda ne beeyongerayo.
Naigaga nga ye musawo mu ddwaaliro erimu e Mayuge, amawulire gano naye gaamuzirizza n'addusibwa mu ddwaaliro lya Community Clinic mu tawuni kkanso y'e Mayuge. Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro lya Mayuge Health Center IV okwekebejjebwa nga poliisi bw'enoonyereza ku ttemu lino.
POLIISI EMUKUTTE KU TTEMU Poliisi mu disitulikiti y’e Mayuge ekutte omusajja ateeberezebwa okuba n’emyaka 32 n'emuggalira olw'okuteeberezebwa okutuga Nabitanaye.
Yusifu Musingule omutuuze w'e Macheche mu ggombolola y’e Buaskira mu disitulikiti y’e Mayuge yakwatiddwa eggulo ku Mmande.