Abantu 28 abagambibwa okuba ab’omutawaana mu kutigomya n'okubba abantu e Iganga, bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.

Abamu ku bantu abaakwatiddwa mu kikwekweto kino.
Kigambibwa nti bazuuliddemu ebiragala omuli n'enjaga wamu n'ebizibiti ebirala era abakwate bakuumirwa mu kaduuku ka poliisi.

Ebimu ku biragala ebyazuuliddwa ne baakutte.
Kino kiddiridde okwemulugunya okuva mu batuuze, olw'obubbi bw'okumenya amayumba, okusikambula amasimu n'obusawo, n'okuteega abantu ne babanyagako ebyabwe omuli ne ssente.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga, East Micheal Kasdha, ategeezezza nti okubasunsulamu, kubadde kukyagenda mu maaso.