Amawulire

Poliisi enunudde abaana 37 e Kasangati

POLIISI y'e Kiteezi n’abakulembeze b'ekitundu, banunudde abaana 37 abaali baggyibwa ku bazadde baabwe nga babagambye nti bagenda kubaweerera

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Kawala ng'ali n'abaana be baanunudde.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI y'e Kiteezi n’abakulembeze b'ekitundu, banunudde abaana 37 abaali baggyibwa ku bazadde baabwe nga babagambye nti bagenda kubaweerera.

Abaana bano baanunuddwa ku kyalo Kabaga Kayaanga mu Kasangati Town Council, nga babadde babapangisiza emizigo mwe basula kyokka nga embeera gye babadde babeeramu yennyamizza.

Abaana bano kuliko abawala n’abalenzi nga bava ku myaka etaano okutuuka ku myaka 16 nga kubaddeko n'abasoma S5 be baggyagye baali basomera nga babasuubizza okubaweerera.

Ekifo poliisi we yaggye abaana bano kiraga nti, waaliwo essomero eriyitibwa Trust of Faith Junior School. Ekitongole kya Bishop of Christ Way Generation Minisitries kye kibadde kyapangisizaawo abaana bano nga kyabaggya mu bitundu okuli; Napak, Buyembe, Kayunga, Iganga, Mayuge n'awalala.

Ssentebe w'ekyalo kino, Buwembo Robert Muwanga ye yatutte okwe mulugunya kwe ku poliisi y'e Kiteezi ng'agamba nti waliwo abaana abali mu kubonaabona mu kitundu kye.

Yategeezezza poliisi nti, waliwo ekitongole ekyabaleeta okubasomesa kyokka tewali n'omu yali agenze ku ssomero. Ssentebe yagambye nti, ekyasinze okumutiisa, kwe kusanga abaana abawala nga basula n’abalenzi ate nga basula wansi ku seminti nga n’abamu tebeebikka ate nga balya kimu.

Poliisi yagenzeeyo n'enunula abaana n'ebatwala ku poliisi y'e Kasangati ng'okunoonyereza bwe kukolebwa. Yakutte n'akulira ekitongole kino, Kandekere Passy Andrew, 39.Abaana baasabye poliisi ebazzeeyo mu bazadde baabwe.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti, poliisi etandise okunoonyereza ku ngeri abantu bano gye babadde bakukusaamu abaana. Yalabudde abazadde okwegendereza abantu ababalimba okubaweererera abaana kuba abamu baba n'ebigendererwa byabwe.

Tags: