Amawulire

Abagambibwa okutta Gongodyo balabiseeko mu kkooti

OLUDDA oluwaabi terunnamaliriza kunoonyereza ku musango gw’okutemula eyali omuzannyi wa Rugby, Sydney Gongodyo Gyabi. Abasajja 4 abagambibwa okwenyigira mu butemu buno baddiziddwaayo ku limanda mu kkomera e Luzira.

Joseph Owino, Elly Mondoni, Obed Mugwisa ate emabega ye Henry Kabugo nga bali mu kkooti.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OLUDDA oluwaabi terunnamaliriza kunoonyereza ku musango gw’okutemula eyali omuzannyi wa Rugby, Sydney Gongodyo Gyabi. Abasajja 4 abagambibwa okwenyigira mu butemu buno baddiziddwaayo ku limanda mu kkomera e Luzira.

Abasibe; Obed Mugwisa, 39, ow'e Nsimbiziwoome agambibwa nti ye yalabirakira mu katambi ng’akutte omuggo aguwujja Gongodyo, Henry Kabugo, 21, omugoba wa bodaboda mu munisipaali y'e Nakawa, Elly Mondoni, 33, ne Joseph Owino 30, baabadde bakomezeddwaawo ku kkooti ya City Hall okumanya oludda oluwaabi we lutuusa mu kunoonyereza ku musango gwabwe guno.

Omuwaabi wa Gavumenti, Grace Akite yategeezezza kkooti ng’okunoonyereza bwe kutannakomekkerezebwa. Yagambye nti, okunoonyereza kwe baakakola tekukwatagana na ndagabutonde bw'abantu be baakakwata, n'asaba babongereyo ku budde.

Omulamuzi Edgar Kalakire awulira omusango guno yakkirizza okusaba kwabwe n'asindika Mugwisa ne banne ku limanda e Luzira okutuusa nga July 23, 2026.

Omu ku bannamateeka ba Rugby abagoberera omusango guno yagambye nti, bakyakolagana ne poliisi mu kunoonyereza kwe baliko okulaba nga bakwatayo abantu abalala abeenyigira mu butemu buno.

Okusinziira ku ludda oluwaabi, kigambibwa nti, Mugwisa, Mondoni, Owino, Kabugo n’abalala abatannakwatibwa nga June 5, 2026 mu zzooni ya Upper Naggulu East Road mu Kampala, nga bakozesa ettima nga bakirowoozezzaako, mu bumenyi bw'amateeka baavaako okufa kwa Sydney Gongodyo Gyabi.

Kigambibwa nti, Gongodyo okuttibwa baali bamulowooleza nti yali anyakudde akasawo k’omukyala, ne bamugwako ekiyiifuyiifu ne bamukuba ensambaggere, ppeeva n’emiggo ebyamuviirako okufa ng’atuusiddwa mu ddwaaliro e Mulago.

Gongodyo yali muzannyi wa kiraabu ya Rugby eya Stanbic Black Pirates ng’azannyira ne ttiimu y'eggwanga eya Rugby Cranes. Okufa kwe kwaleka eddibu ddene mu muzannyo guno. Yafiira ku myaka 27 n'aziikibwa e Buweri mu Sironko.

Tags: