OMU ku bavunaanibwa ogw’okutta eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi eyabuzibwawo alemesezza kkooti okuwulira omusango guno, kkooti n’eragira oludda oluwaabi lunoonye gy’ali.
Yusuf Mugerwa, omu ku bali ku gw’okutta Kaweesi y’alemesezza kkooti okugendamu maaso n’omusango guno nga kigambibwa nti, yakwatibwa ebitongole by’ebyokwerinda.
Evans Ochieng, omu ku bannamateeka b’abavunaanibwa yagambye kkooti nti, omu ku beeyimirira Mugerwa, Muslim Nkoba Mukasa nga naye mu kkooti yabaddemu yamugam bye nti, ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde baali ku mulimu we bookyeza ebyuma ne wabaawo abeebyokwerinda abajja ne bakwata Mugerwa ne bamutwalamu kifo gye batategeera.
Baamunoonya ku poliisi y’e Kasangati ne Kira n’ababulayo. Yagambye nti, Mugerwa teyeebulankanyizza wabula yakwatibwa. Wabula waliwo abaakozesezza ssimu ya Mugerwa ne bakubira Mukasa nga bamuyitaagende amweyimirire ku CMI e Mbuya naye teyagenzeeyo.
Omusango guno guwulirizibwa abalamuzi bana okuli; Suzan Okalany, Dr. Andrew Bashaija, Celia Nagawa ne Richard Wejuli Wabwire abakkirizza okusaba kwa Jatiko.
Abavunaanibwa kuliko; Abdul Rashid Mbaziira, Noordeen Aramathan Higenyi nga bano bakyali ku limanda mu kkomera e Luzira, Yusuf Siraje Nyanzi, Jibril Kalyango, Yusuf Mugerwa, Joshua Kyambadde nga baayim bulwa ku kakalu ka kkooti ate abalala okuli Shafik Kasujja ne Bruhan Balyejusa babula