Amawulire

Beeyamye okutumbula ebyenjigiriza n’ebyobulamu

AKULIRA ekitongole kya Microhaem Scientifics, ekikola obuuma obukebera endwadde ez’enjawulo n’eddagala asuubizza okudduukirira essomero lya Comprehensive Secondary School erisangibwa e Ntebe.

Amyuka Gavana wa Club eno, Paddy Lukwago ng’alayiza Ssembeguya (awanise omukono).
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

AKULIRA ekitongole kya Microhaem Scientifics, ekikola obuuma obukebera endwadde ez’enjawulo n’eddagala asuubizza okudduukirira essomero lya Comprehensive Secondary School erisangibwa e Ntebe.

Ono wa kukwatagana ne Entebbe Rotary Club okulaba nga batumbula ebyenjigiriza mu ssomero lino n’okulinnyisaku mutindo.

Dr. Cedrick Akwesigye bino yabyogeredde ku mukolo gw’okukyusa obukulembeze bwa Entebbe Base, ogubadde ku Emperor Heights e Kisubi.

Roger Ssembeguya yatuuziddwa nga Pulezidenti owookusatu ng’azze mu bigere bya Eva Mugidde.

Ssembeguya yagambye nti, oluvannyuma lw’okulambula essomero lino, baazuula nga liri mu mbeera mbi nga teririna na kaabuyonjo. Yagambye nti, lirina abaana abasukka mu 1,000 kyokka bonna nga bakozesa kaabuyonjo emu, n’ategeeza nti, bagenda kusooka kulizimbira kaabuyonjo ez’omulembe.

Kuno kw’agasse okukola pulojekiti endala zonna lotale z’essaako essira okuli; obujjanjabi, ez’obuyonjo, n’okusakira kiraabu ye okufuna emikwano eginabadduukirira mu kukola pulojekiti n’okwongera ku muwendo gwa bammemba.

Dr. Akwesigye yasiimye ebikolebwa bannalotale ne yeeyama okukwatirako aba Entebbe Base okubbulula essomero lino mu byonna abayizi bye beetaaga. Yawaddekiraabu eno obukadde 10.

Tags: