Amawulire

Kkooti ewadde Mandela ebiragiro ku ttaka ly’e Busega

KKOOTI ewadde ebiragiro kkampuni ya Mandela Millers obutaddamu kusaalimbira kuttaka erikaayinirwa wakati waayo ne Ssentebe w’ekyalo Kigwanya e Busega mu Lubaga.

Amaka ga Ssentebe Kabuye lwe gaakoonebwa gye buvuddeko.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KKOOTI ewadde ebiragiro kkampuni ya Mandela Millers obutaddamu kusaalimbira kuttaka erikaayinirwa wakati waayo ne Ssentebe w’ekyalo Kigwanya e Busega mu Lubaga.

Kyaddiridde amaka ga ssentebe Pius Kabuye Mukasa agasangibwa e Busega okumenyebwa ku ntandikwa y’omwaka guno, abantu abataategeerekeka ekyamuleka ng’abundabunda.

Ono kyamutuusa n’okusindikibwa ku limada e Luzira gye yamala wiiki ssatu ng’avunaanibwa okusaalimbira ku ttaka erigambibwa okubeera erya kkampuni ya Mandela Millers.

Bwe yava mu kkomera, Kabuye yeekubira enduulu mu Kkooti Enkulu etaawuluza ensonga z’amaka ng’awakanya ekya Mandela okwesenza ku ttaka lya ffamire ye.

ssentebe Kabuye

ssentebe Kabuye

Ettaka lino lisangibwa ku Block 21, Polot 314 e Busega nga liwezaako desimoolo 45. Kabuye wamu ne baganda be Rose Ssekawaya, Patricia Nalukenge ne Titus Kalungi Ssekawaya abalina omugabo ku ttaka ly’omugenzi John Ssekawaya, bawaabira bassenga bwe; Justine Kasule Nakitto, Margret Kalungi n’omujjwa

Abbas Kayiwa abaawee bwa obuyinza okuddukanya emmaali y’omugenzi okwekobaana ne bafuna ekyapa mu lukujjukujju ne bakiguza Mandela Millers ey’e Busega.

Okusinziira ku ssentebe, abaagula beekobaana ne bakoona amaka ge agasangibwa ku ttaka

lino n’ekigendererwa ky’okutwalawo mu maanyi n’oluvannyuma ne bamusiba nga bamulanga kusaalimbirako.

Yategeezezza nti, baatwala omusango mu kkooti nga baagala eyimirize byonna ebikolebwa ku ttaka nga balumiriza bassengabwe bano okubayita ku litalaba ng’ettaka tebalirinaako lino mugabo.

Tags: