KKOOTI ewadde ebiragiro kkampuni ya Mandela Millers obutaddamu kusaalimbira kuttaka erikaayinirwa wakati waayo ne Ssentebe w’ekyalo Kigwanya e Busega mu Lubaga.
Kyaddiridde amaka ga ssentebe Pius Kabuye Mukasa agasangibwa e Busega okumenyebwa ku ntandikwa y’omwaka guno, abantu abataategeerekeka ekyamuleka ng’abundabunda.
Bwe yava mu kkomera, Kabuye yeekubira enduulu mu Kkooti Enkulu etaawuluza ensonga z’amaka ng’awakanya ekya Mandela okwesenza ku ttaka lya ffamire ye.

ssentebe Kabuye
Abbas Kayiwa abaawee bwa obuyinza okuddukanya emmaali y’omugenzi okwekobaana ne bafuna ekyapa mu lukujjukujju ne bakiguza Mandela Millers ey’e Busega.
Okusinziira ku ssentebe, abaagula beekobaana ne bakoona amaka ge agasangibwa ku ttaka
lino n’ekigendererwa ky’okutwalawo mu maanyi n’oluvannyuma ne bamusiba nga bamulanga kusaalimbirako.
Yategeezezza nti, baatwala omusango mu kkooti nga baagala eyimirize byonna ebikolebwa ku ttaka nga balumiriza bassengabwe bano okubayita ku litalaba ng’ettaka tebalirinaako lino mugabo.