ABATUUZE b'e Bukasa mu muluka gw'e Kirinnya mu divizoni y'e Bweyogerere mu munisipaali y’e Kira mu distulikiti y’e Wakiso, Gavumenti gy'egenda okuzimba omwalo ogwa Bukasa Inland Port bafunye akamwenyumwenyu ku matama.
Gavumenti etandise okubakwasa ettaka lyabwe n’ebigenderako nga Pulezidenti Museveni bwe yabasuubuza.
Abasengulwa baakutwalibwa mu bibinja okutuusa lwe banaggwaayo era baasoose abo be baamenyera amayumba.
Nga tebannasiba ngugu kwamuka Bukasa, ssentebe w’e Bukasa, John Kaddu ng’ali n’abakungu mu kitongole ekyakwasibwa pulojekiti y'okuzimba omwalo ekya GAUFF ne misitule y'entambula, baasoose kulambula buli eyasasulwa naye nga ennyumba ye tennamenyebwa ne babalagira bazimenye baggyeko ebintu byabwe byonna omuli amabaati n'ebirala n’okussa omukono ku kiwandiiko ekibasengula.
Yabasabye okubeera abakkak kamu kubanga ebyokwerinda e Luweero binywevu n'abalabula n'obutakola ffujjo ku kyalo kubanga anaakwatibwa waakuvu naanibwa mu mateeka.
Kaminsona okuva mu minisitule y'ebyenguudo, Johnson Bagira yagambye nti, balina enteekateeka okubateera ku ttaka empeereza omuli amasomero, amalwaliro, amazzi n’ebirala nga n’amasannyalaze tegali wala.
Yabawadde amagezi, abakyalinamu okwemulugunya ku ssente ezaabaweebwa, ensonga bazitwale eri be kikwatako.
Ssentebe w'ekyalo Mayangayanga, Francis Katende yasabye abasenze abapya okugoberera
amateeka g'ekyalo n'okweyisa obulungi.