Ekibiina kya NRM kyeddizza ekifo ky’omubaka omukyala ow'e Kalangala oluvannyuma lw'akalulu akaddiddwaamu ne kawa ngulwa Aidah Nabayiga.
Akalulu kano akaabadde ak'obunkenke, kaabaddemu abavuganya bataano wabula embiranye yabadde wakati wa Aidah Nabayiga owa NRM ne Irene Nampala owa NUP. Nabayiga yafunye obululu 12,642 ate Nampala 7,474. Atwala ebyokulonda mu disitulikiti eno, Ronald Agaba yalangiridde Nabayiga ku ssaawa 9:00 ez'ekiro era abawagizi be ne batandikirawo okuyisa ebivvulu.