Amawulire

Banja asiimye obuweereza bw'omubuulizi eyafudde

OMULABIRIZI w'e Namirembe, Rt. Rev. Moses Banja asabye abakkiriza okugumya emitima gyabwe, baleme okweraliikirira ne bwe baba balina ebibasoomooza.

Omulabirizi Banja ng'akulembeddemu omukolo gw'okuziika Omubuulizi Mpingu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMULABIRIZI w'e Namirembe, Rt. Rev. Moses Banja asabye abakkiriza okugumya emitima gyabwe, baleme okweraliikirira ne bwe baba balina ebibasoomooza.

Yabyogedde akulembeddemu okuziika Omubuulizi w'e Masanafu eyawummula, Simon Mpingu 78, ku kyalo Kasangula – Namungo mu Mityana. Yagambye nti, ebisoomooza nga ebyenfuna, entalo, ebbeeyi y'amafuta, ettemu n'ebirala tebisaanye kweraliikiriza bantu kuba  byonna Katonda abimanyi.

Yasiimye abantu olw'okujjumbira okuwerekera abaweereza nga bavudde mu bulamu bw'ensi n'agamba nti, kano kabonero akalaga nti basiima omulimu gw'abaweereza ogw'okunnyikiza ekigambo kya Katonda.

 

Omulabirizi Banja yasiimye omugenzi olw'obukozi kuba yaweerezaako ku Bulabirizi nga y'avunaanyizibwa ku by'amasannyalaze ate aweerezza Ekkanisa obulamu bwe bwonna.

Nnamwandu Esther Mpingu yeebazizza aba kungubazi n'abantu bonna abalambudde bba mu bulwadde. Mpingu yasindikibwa okuweereza mu Kkanisa ya St. Mark e Masanafu mu 1985. Okuziika kwetabiddwaako Omulabiriziwa West Buganda eyawummula, Rt.Rev. Kefa Kaya Ssemakula n'abaweereza abalala

Tags: