Abavubuka babiri abagambibwa okuba ab’omutawaana abaludde nga batigomya abatuuze n'abasuubuzi mu bitundu by'e Luweero, Wakiso ne Kampala, bakwatiddwa poliisi.
Mu kusooka, poliisi yakutte Akim Ssekandi amanyiddwa nga Kimiyoo nti era naye n'akkiriza nga bw'aludde nga yeenyigira mu kutulugunya abantu n'okubabba ssente , amasimu n'ebintu ebirala.
Kino, abadde asinga kukikolera mu kabuga k'e Wobulenzi, Bombo, Kasana, Kiwoko ne Luweero.
Ekikwekweto ekirala, kyakoleddwa e Kawanda Matugga, poliisi n'ekwata Shaban Sserugga amanyiddwa nga Dog City . Ono agambibwa okulumba abantu n'abasuubuzi mu bitundu eby'enjawulo n'abakuba obutayimbwa ne ppeeva, n'abanyagako ebyabwe.
Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twineamazima, ategeezezza nti okuyigga abalala, kugenda mu maaso okulaba nga obubbi , bukendeera.