Amawulire

Akakiiko k’ebyokulonda kataddewo obukwakkulizo ku baagala obwa LC

Akakiiko k’ebyokulonda kataddewo obukwakkulizo ku baagala obwa LC

Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda Justice Simo Byabakama ng'annyonnyonola
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

AKAKIIKO k’ebyokulonda kataddewo obukwakkulizo 20 ku baagala okwesimbawo ku kulonda kwa L.C okw’okubeerawo ku Lwokubiri nga July 28, 2026.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Simon Byabakama yasinzidde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda n’ategeeza nti, okulonda kwa L.CI, L.CII n’obukiiko bw’abakyala obwali bwakoma okulondebwa nga 2018 bwe kugenda okubeerayo omwezi ogujja.

Okulonda kugenda kutandika n’okuzza obuggya enkalala z’abalonzi ku byalo ebiwera 71,214 n’emiruka 10,717 okwetooloola eggwanga lyonna era nga okulonda kugenda kubeera kwa kusimba mu mugongo.
Okuwandiikibwa mu ligesita y’ekyalo olina okuba ng’oli mutuuze ku kyalo, oli munnansi, ng’oweza emyaka 18 n’okudda waggulu.
Olina kwewandiisiza ku kyalo kw’obeera so si gye bakuzaala oba gy’okolera era nga weeyagalidde okuteekebwa ku lukalala. Okwewandiisa kujja kukulemberwamu omukozi w’akakiiko okuva nga July 6, okutuusa July 10, 2026 okuva ku ssaawa 1:00 okutuuka 12:00 ez’olweggulo.
Omukozi w’akakiiko ajja kubuuza omutuuze amannya, ennamba ya densite y’eggwanga oba kwe yasabira okugifuna, emyaka, ekyalo era ng’okwewandiisa kwa bwereere.
Okulonda kugenda kubeera mu nkola y’ebibiina ebingi era Byabakama yasabye ebibiina byetegeke nga basunsula abantu be bagenda okusimbawo. Kyokka n’abatalina bibiina nabo bakkirizibwa okwesimbawo.
Nga July 13 ne 14, 2026 wajja kubeerawo okutimba enkalala z’abalonzi ku byalo ng’abatuuze beekenneenya oba ng’amannya gaabwe gaawandiikibwa bulungi, okuggyamu amannya g’abafu, abataweza myaka awamu n’abatali batuuze ku kyalo.
Abaagala obwassentebe bw’ebyalo bajja kufuna ebbaluwa z’okwesimbawo okuva ku miruka okuva nga July 9, okutuuka 14, 2026.
Okwewandiisa kwakubeera ku bitebe by’amagombolola, Town Council ne Divizoni za munisipaali okuva nga July 15-19, 2026. Omuntu ateewandiisa mu ligesita y’ekyalo takkirizibwa kwesimbawo wadde okulonda.
Okukuba kampeyini z’okunoonya obululu kugenda kumala ennaku munaana okuva nga July 20-27, 2026. Kampeyini zirina kutandika okuva ku ssaawa 1:00 ey’oku makya okutuuka ku 12:00 ez’olweggulo era tewali akkirizibwa kunoonya bululu kusukka kyalo kye yeesimbyeko.
Nga July 28, 2026 kwe kulonda Ssentebe w’ekyalo nga bayita mu kusimba ennyiriri emabega w’omuntu eyeesimbyewo, ekifaananyi kye oba akabonero. Omuwanguzi ajja kulangirirwa era bajjuze ne foomu z’akakiiko eziraga obululu abeesimbyewo bwe bafunye.
Ssentebe anaaba alondeddwa ajja kwanjula olukiiko lw’agenda okukulembera nalwo okuli; omumyuka wa ssentebe, omuwandiisi, omuwanika, ow’amawulire, ow’ebyobulimi n’ow’ebyokwerinda. Olukiiko lw’abatuuze be bateekeddwa okukakasa abantu abalondeddwa Ssentebe era singa babeerako ne gwe bagaanye, alina okulonda omulala.
Bassentebe b’obukiiko bw’abavubuka, abakadde, abakyala, abaliko obulemu ku byalo abaalondebwa edda bajja butereevu ku lukiiko lw’ebyalo era tewali kuddamu kubalonda.
Tewali buyigirize bwonna bwetaagisa okwesimbawo ku bwassentebe wadde okubaako ssente z’osasula ez’okwewandiisa.
OKULONDA L.C II
Okulonda Ssentebe wa L.C II ow’omuluka kwa kubeerawo nga August 10, 2026. Obukiiko bwa L.CI ku byalo be bajja okulonda Ssentebe wa L.CII. Bajja kusooka kuddamu kuwandiika ligesita y’abalonzi nga July 29, n’oluvannyuma batimbe enkalala nga July 30 ne 31, 2026.
Abeegwanyiza obwassentebe bajja kwewandiisa nga August 3, 2026. Ate kampeyini zijja kutandika nga August 4-9, 2026 nga bwe bajja okulung’amizibwa abakozi b’akakiiko.
Amangu ddala nga bamaze okulonda nga August 10, 2026 ssentebe ajja kulangirira olukiiko lw’agenda okukulembera nalwo.
TOKKIRIZIBWA KUBEERA NA BIFO 2
Byabakama yagambye nti, tewali akkirizibwa kubeera na bifo bya bukulembeze bibiri. Singa omuntu alondebwa ku L.CII abeera alina okulekulira ekifo kya L.C I. Kino era kikwata ne ku bantu abaalondebwa edda ku bwa kansala abeegwanyiza ebifo ku L.C I be yagambye nti, balina okulondako ofiisi emu.
Omuntu eyalondebwa ku kaadi y’ekibiina ku L.C I bw’aba asazeewo okwesimba ku L.C II alina okusigala mu kibiina ky’ekimu.
OKULONDA KW’ABAKYALA
Okulonda obukiiko bw’abakyala ku byalo kwa kubeerawo nga July 23, 2026. Kyokka eky’enjawulo balonda lukiiko lwa bantu bataano si ssentebe yekka okuli; Ssentebe, omumyuka wa ssentebe, omuwanika, omuwandiisi n’ow’amawulire.
Abakazi bokka abawezezza emyaka 18 nga batuuze bajja kusooka kwewandiisa mu ligesita okuva nga July 6-10, 2026. Abeesimbyewo ku kyalo, bajja kwewandiisiza ku bitebe bya magombolola/Town Council/ divizoni za munisipaali okuva nga July 15-19, 2026.
Okunoonya obululu kujja kubeerawo okutandika nga July 20-22, 2026 ng’okulonda kujja kubeera kwa kusimba mugongo.
Byabakama yagambye nti, buli mukazi ku kyalo ayagala okwetaba mu kulonda kw’abakyala n’okw’ekyalo alina okwewandiisa mu lijesita za mirundi ebiri ez’enjawulo.
Nga August 7, 2026 kwe kujja okubeera okulonda kw’obukulembeze bw’abakyala ku mutendera gw’omuluka.
Okulonda obubiiko bw’abakyala ku magombolola kwa kubeerawo nga August 18, 2026. Okwewandiisa kujja kubeerawo nga August 14 ate kampeyini okuva nga August 15-17, 2026.
Nga August 28, 2026 lwe bajja okulonda obukiiko bw’abakyala ku disitulikiti. Kyokka eky’enjawulo ku mutendera guno okulonda kujja kuba kwa kyama.
Abaagala ebifo bajja kwewandiisa nga August 24, 2026. Okunoonya obululu kujja kubeerawo okuva nga August 25-27, 2026.
Olukiiko lw’abakyala ttabamiruka mwe bagenda okulondera olukiiko lw’eggwanga kwakubeerawo okuva nga September 3 ne 4, 2026.
Nga August 30 ne 31, 2026 lwe bajja okutegeka enkalala z’abalonzi n’oluvannyuma bazitimbe nga September 1 ne 2, 2026.
Abakozi ba Gavumenti abaagala okwesimbawo baaweereddwa amagezi okulekulira ebifo byabwe mu bbanga eritasukka nnaku 30 ng’okulonda tekunnabeerawo.

Tags: