Amawulire

Abagambibwa okubba ebikozesebwa mu kukola oluguudo lw'e Kassanda bakwatiddwa Poliisi

Abakwatiddwa, kuliko Pascal Sekyanzi 47 omutuuze wa Nyanzi LC1 mu kabuga k'e Kiganda ne John Kiyingi 58 ow'e Kigoloba LC1  mu muluka gw'e Kasambya nga bombi bakuumirwa ku poliisi y'e Kiganda e Kassanda.

Abagambibwa okubba ebikozesebwa mu kukola oluguudo lw'e Kassanda bakwatiddwa Poliisi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu kubba ebikozesebwa mu kukola oluguudo, bakwatiddwa poliisi e Kassanda.

Abakwatiddwa, kuliko Pascal Sekyanzi 47 omutuuze wa Nyanzi LC1 mu kabuga k'e Kiganda ne John Kiyingi 58 ow'e Kigoloba LC1  mu muluka gw'e Kasambya nga bombi bakuumirwa ku poliisi y'e Kiganda e Kassanda.

Kigambibwa nti basangiddwa n'amayinja ageeyambisibwa okukola oluguudo lwa Mityana - Mubende Highway , era nga bano baaloopeddwa Sajon Ngunule ssentebe wa Energo Project Company. Kigambibwa nti agamu ku mayinja , gaasangiddwa  mu Kiwogo cell e Kalamba.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, ategeezezza nti , bano bwe batwaliddwa ku poliisi, nti Andrew Wasswa 25 okuva e Kyamusota mu muluka gw'e Kawungera, n'agezaako okuwa omusirikale Peter Auruku enguzi ya 50,000/- asobole okubayimbula, nga naye bamukutte.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Mateeka
Kassanda
Kukola
Luguudo