Amawulire

Eyasaze bbebi akanyata n'afa kyokka nga si musawo poliisi emukutte

Bibadde ku kyalo Bukwaku - Nakavule mu ggombolola y'e Babukalu e Bugiri, poliisi bw'ekutte Racheal Atikwi 26 ku bigambibwa nti asaze omwana akanyata n'afa, okusinziira ku nnyina Altronce Kamugisha.

Eyasaze bbebi akanyata n'afa kyokka nga si musawo poliisi emukutte
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Bugiri ekutte omuwala eyeefudde omusawo omuyambi , n'asala ekanyata ku lulimi lw'omwana ow'emyaka Ena n'afa.

Bibadde ku kyalo Bukwaku - Nakavule mu ggombolola y'e Babukalu e Bugiri, poliisi bw'ekutte Racheal Atikwi 26 ku bigambibwa nti asaze omwana akanyata n'afa, okusinziira ku nnyina Altronce Kamugisha.

Kitegeezeddwa nti, nnyina, yatutte omwana ono ew'omukyala okumukeberako waakiri amufunire ku ddagala ly'ekinnansi asiigewo, nti kyokka ye n'asalawo okusala akanyata nti kyokka olulimi ne luvaamu omusaayi mungi n'atemya ku banne omwana ne bamwongerayo mu ddwaaliro ekkulu e Bugiri, gy’afiiridde.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti okubuuliriza  kukolebwa.

Tags:
Poliisi
Musawo
Kukwata
Kufa
Kusala