AKAKIIKO k’ebyokulonda kataddewo akakwakkulizo ku kulondebwa kw’abassentebe n’obukiiko bw’ebyalo bwe kategeezezza nti abagenda okulonda bagenda kweyambisa obukonge nga basimbye ennyiriri.
Yagambye nti abanaaba bawandiisiddwa ku lukalala lw’abalonzi mu kitabo ky’ekyalo, be bokka abagenda okukkirizibwa okusimba mu migongo gy’abo abeesimbyewo okwewala abateekawo emivuyo.
“Omulonzi gwe basoma ku lukalala, ye yekka agenda okukwasibwa akakonge oluvannyuma agende mu kibangirizi ewali okulonda era ng’okusimba layini alina kusooka kulaga kakonge ako kuba kye kimu ku byetaago ebyateereddwawo akakiiko.” Tusiime bwe yayongeddeko.
Yasabye abantu okugoberera obulungi enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda baleme kufuna buzibu ng’olunaku lw’okulonda lutuuse, mwe yategeerezza nti abeewandiisizza bokka be bajja okwesimbawo, okuwemulugunya ku bivudde mu kulonda n’ebirala.
Fatumah Kitimbo nga y’akulira ebyokulonda mu munisipaali y’e Ntebenaye yagasseeko nti akakonge kano kagenda kuyambako ku bantu ababadde balonda nga tebali ku lukalala ne kiviirako abantu okulwanagana.
Yasabye abantu okwewandiisa mu bungi kuba enkalala ze bagenda okukola za kyalo nga tezikwatagana na ziri ez’okulonda kw’eggwanga, era n’ategeeza nti okwewandiisa kwa kyeyagalire kyokka okulonda kw’abo abeewandiisizza bokka.
Yalabudde abeteeseteese okugenda okulonda nga tebeewandiisizza, nti tewali agenda kukkirizibwa kuba ekyalo gy’alaze kijja kuba tekimumanyi era nga takkirizibwa kulondera ku kyalo ekyo.
Yayongeddeko nti okuwandiisa abantu, okulonda n’enteekateeka endala ez’akakiiko zigenda kukolebwa mu lujjudde nga buli omu alaba okwewala okwemulugunya okubaddewo nti empapula ezimu zikyusibwa ng’abakikola beggalidde mu bifo ebizikivu.
Abagenda okulondesa 27 be batendekeddwa mu ggombolola ezikola Wakiso nga bano baakutiddwa obutasaba bantu ssente okubawandiika, okufaayo obutakola nsobi zinaaviirako kukuutiza bitabo ssaako n’obutasosola mu bantu be bagenda kuwandiisa kuba akakiiko kakolera buli omu.