Mutabani w'omugenzi Kafeero,DNA gwe yawandula adduukiriddwa n'ettaka afune w’atandikira obulamu obupya.

Tushabe Ng'akwasa Muwanguzi Godfrey Ekyapa Kye. Wakati ye Bruno K.ttaka,kyebamutonedde Okufuna Watandikira (3)
Muwanguzi Godfrey, 26 abadde abeera e Katosi mu Mukono y’omu ku baana 21 abaawandulwa ku abo 25, era okukwasibwa ettaka lino eriweza obugazi bwa ffuuti 50 ku 100 e Biharwe mu kibuga ky’e Mbarara kiddiridde okulabikira ku mutimbagano gw’omuyimbi Bruno K, ng’asaba obuyambi wiiki ewedde asobole naye okufuna w’atandikira okwebeeasawo.
Aba kkampuni ya Amity Reators abatunda amataka mu kibuga e Mbarara be bamu ku baavaayo ne bamuwa ettaka nga kati olwaleero balimukwasizza mu butongole okuba nti batuukirizza kye beeyama.
Bruno K, yazze ne Muwanguzi nga awerekeddwako mwannyina Nabbosa Faith ow’e Mukono gw’abeera naye e Mbarara era wano Herbert Tushabe owa Amity yabakwasizza ettaka n’ekyaapa kyakwo mu butongole.
Bruno K yagambye nti ekimu ku biruubirirwa bye kwe kuteeka akamwenyo ku matama eri abantu ababeera baweddemu essuubi.
Herbert Tushabe owa Amity agambye nti okugaba n’okuyamba gubeera mutima era nti baalaba embeera Muwanguzi gye yalimu ne basalawo okumuyamba.
Ate ye Muwanguzi ne muganda we, basiimye ne bategeeza nti essuubi lyali lyabaggwaamu oluvannyuma lwa maama okufa ate ne gy’abadde ayita ewaabwe okuba nti eno nayo DNA yamuwandudde.