JOSE Chameleone akoze DNA ku baana be n’ewandula omu.Chameleone eyabadde awayaamu ne Bukedde oluvannyuma lwa DNA y’abaana ba Paul Kafeero lwe yafulumye abaana ne batabuka, yagambye nti naye yakoze DNA gye buvuddeko.
Ono yasoose kwewuunya ng’agamba nti yali asuubira nti Kafeero yalina abaana bangi ne yeekanga nga batono ddala bwe byavuddeyo ng’alina bana.
Yagambye nti okwewala okuziikulwa, yagenze mu ddwaaliro e Wandegeya ne bamuggyako omusaayi ne bagutereka. “Kubanga bwe mba nfudde nga waliwo abakaayana nti balina abaana bange, mu kifo ky’okummalako eddembe nga banziikula, baligenda e Wandegeya ne bakeberera be balumiriza okuba abaana bange ku musaayi ogwo,” Chameleone ng’amannya ge amatuufu ye Joseph Mayanja bwe yagambye.
Yagasseeko nti essaawa eno ebimu ku bibadde bimutawaanya ku nsonga y’abaana be azze abigonjoola. Yategeezezza Bukedde nti, gye buvuddeko yalina enkaayana n’omu ku bantu b’azze asanga gwe bayita Nayira eyali agamba nti alina omwana we.
Yali ya mukwano era lwe lumu ku nnyimba z’omukwano ez’omuyimbi ono ezisinga amaanyi. Ng’ewedde mu myaka ebiri egyaddako awo nga mu 2005, waabalukawo enkaayana ng’omukyala oyo era nga naye Mucootala nga bw’olaba mukyala wa Chameleone, Daniella Atim yategeeza bw’alina omwana mu muyimbi oyo.
Ensonga zaawanvuwa era eyali ssaabavvulu Balaam Barugahara era eyali pulomoota wa Chameleone, ye yazituulamu. Essaawa eno Balaam nga ye minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, ye yattukizza ebya DNA okudda mu mawulire ng’akulemberamu abaana ba Kafeero okutwalibwa okuggyibwako omusaayi kwe baabakeberedde endagabutonde.
Kati Chameleone asigazza abaana musanvu okuli abataano aba Daniella abali mu America, Aylah Mayanja ali e Bubirigi eyazaalibwa mu Dorotia, n’omulala omu ali Anna Mayanja ali e Canada.
ASABYE ABAWAGIZI KU BY’AMAKA GE
Yasabye abawagizi okumusabira bwe yagambye nti ali mu bizibu ne mukyala we ow’empeta Daniella bwe bali mu kkooti naye Chameleone akoze DNA n’ewandula omu:
Bamuggyeeko omusaayi ne bagutereka n’agumya abawagizi be nti bijja kuggwa.
Chameleone agamba nti yalumiddwa olw’okuziikulwa kwa Kafeero eyali mukwano gwe kyokka olw'okuba ebyavudde mu musaayi byayambyeko ku ky’okulaga ekituufu, yasabye abaana bakkakkane bakole ebyabwe n’abawakana bakkirize ku lw’obulungi bw’omuyimbi oyo.
Emboozi eno we yakoleddwa ku bbaala ya Torino e Kololo, Chameleone yasabye Robinah Bisirikirwa gwe yagambye nti akutte bulungi eby’abaana ba Kafeero, n’amusaba nti naye (Chameleone) bw’aliba afudde ne waavaayo abamusiba abaana, akola ng’ekisoboka okugonjoola ensonga eyo nga bw’akoze ku bya Kafeero.
Chameleone yakkirizza nti abakazi beekwanira abayimbi nga bwe kisuubirwa nti bangi beegwanyizanga Kafeero ne bamusiba n’abaana nti kyokka yeanyumirwa nnyo nga ye yeekwanidde omukazi.
Yabaddewo ne Ragga Dee era naye n’ategeeza nti, bw’abanga afudde, alina abaana bana bokka tebamusibanga abalala. Mukyala we Maria naye yabaddewo n’agamba nti abaana abamanyi era ekyo ky’ajja okugumirako.