Amawulire

Ebyabadde mu kafubo ka Muhoozi ne Monitor

OMUDUUMIZI w’eggye lya UPDF, Gen. Muhoozi Kainerugaba asisinkanye bannannyini kitongole kya Nation Media Group ne boogera ku nsonga ezaaviirako okuggala emikutu gyabwe egy'amawulire okuli NTV Uganda, Daily Monitor, Spark TV, leediyo ya KFM ne Dembe FM.

Saam Aziz mutabani wa Rostam Aziz nnannyini kkampuni ya NMG ng'abuuza ku muduumizi wa UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ku ddyo ye Georgia Mutagaywa ne Andrew Mwenda.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUDUUMIZI w’eggye lya UPDF, Gen. Muhoozi Kainerugaba asisinkanye bannannyini kitongole kya Nation Media Group ne boogera ku nsonga ezaaviirako okuggala emikutu gyabwe egy'amawulire okuli NTV Uganda, Daily Monitor, Spark TV, leediyo ya KFM ne Dembe FM.

Ensisinkano yabadde ku kitebe ky’eggye erikuuma Pulezidenti ekya SFC e Ntebe eggulo nga yeetabyemu omugagga Rostam Aziz ne mutabani we Saam Aziz, awamu n’akulira abakozi mu kkampuni ya Taarifa Limited, Georgia Mutagaywa ne munnamawulire Andrew Mwenda.

Ensonda zaategeezezza nti, ensisinkano yatambulidde ku nsonga ezaaviirako okuggala emikutu gya Nation Media, Muhoozi gye yeemulugunya nti gyali girina kyekubiira mu nkola y’emirimu.

Abakulira Nation Media bakkirizza okutereeza enkola y’emirimu baweereze mu ngeri eteriimu kyekubiira, nga bakulembeza omwoyo gw’eggwanga.

Oluvannyuma lw’ensisinkano, Muhoozi asuubirwa okuwa Pulezidenti lipooti enzijuvu ku bye bakkaanyizzaako balabe oba emikutu egyo giddako. Olukiiko lwawedde tebakkaanyizza ku lunaku lwe banaagiggula.

Emikutu gya Media Nation Group gyaggalwa mu kiro ekyakeesa ku Ssande nga June 28, 2026 era Muhoozi ng'ayita ku mukutu gwe ogwa X n’ategeeza nti

y'agiggadde n’ategeeza nti lw'aliyagala we baliddamu okukola. Andrew Mwenda era nga ye mwogezi w'ekisinde kya PLU, yateeka obubaka ku mukutu gwe ogwa X (eyali twitter) n’ategeeza nti yali akkaanyizza ne Gen.

Muhoozi akulemberemu enteeseganya n’abakulira ekitongole balabe engeri gye basobola okugonjoola obutakkaanya obuliwo.

Tags: