Amawulire

KCCA eragidde ku kkampuni ezikola enguudo mu Kampala

AKULIRA KCCA, Hajjati Sharifa Buzeki alagidde kkampuni ezikola enguudo mu  Kampala okwongeramu amaanyi ziggwe mu budde, kisobozese abantu okuddamu okuzikozesa.

Hajjati Buzeki ng’alambula enguudo ezikolebwa mu Kampala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

AKULIRA KCCA, Hajjati Sharifa Buzeki alagidde kkampuni ezikola enguudo mu  Kampala okwongeramu amaanyi ziggwe mu budde, kisobozese abantu okuddamu okuzikozesa.
Ku Lwokusatu akawungeezi, Buzeki yalambudde enguudo eziri mu kukolebwa mu kibuga Kampala okuli olwa; Ben Kiwanuka, Sebaana ne Kira Road. Yabadde awerekeddwaako ab’ebyekikugu mu KCCA n’alagira kkampuni eziri mu kuzikola okwongeramu amaanyi omulimu guggwe mu bbanga eryagerekebwa. Omwogezi wa KCCA Daniel Nuweabine, yagambye nti, Buzeki yasazeewo okulambula enguudo okulaba omulimu we gutuuse kuba ezimu ebbanga eryagerekebwa  linaatera okuggwaako wamu n’okuzuula okusomoozebwa okuliwo.

Yagambye nti, ku luguudo lwa Ben Kiwanuka kyazuuliddwa nga kkampuni ekola oluguudo luno esanze okusoomoozebwa naddala mu budde bwe bakoleramu kubanga bakola kiro so nga ebirina okukolebwa bingi kuba luli mu  lutobazzi nga balina okusooka okuyiwayo amayinja lusobole okuggumira ate nga baagala lubeere lwabuwangaazi.
Yategeezezza nti, kkampuni ya Sterling ekola oluguudo luno erina ebbanga lya myezi ena gyokka okulaba ng’erumalirizza nga buli lunaku abakola oluguudo luno balina okutwalayo ebimotoka 20 ate bakola kiro wokka kuba emisana abantu bangi abayitawo n’okukolerawo.  Yagambye nti, enguudo zonna ezikolebwa waliwo ebintu ebyongeddwaako omuli okukola emifulejje egitwala amazzi okuteekamu payipu omulina okuyita waya z’amasannyalaze ne waya z’ebyempuliziganya nga kino kigendereddwaamu okutangira okusima enguudo ezimaze okukolebwa.
Yagambye, oluguudo lwa Kira Road lulina okuggwa mu myezi 3 n’asaba abalukola okwongeramu amaanyi.

Tags: