NAKAMYA
KALIISOLIISO wa Gavumenti akutte omwogezi wa Palamenti, Chris Obore, n’abakozi abalala musanvu abagambibwa okweyambisa obubi ofiisi n’okubulankanya ssente z’omuwi w’omusolo eziri mu buwumbi mu kiseera eyali sipiika Anita Among we yabeerera mu ofiisi.
BASINDIKIDDWA KU LIMANDA OKUTUUKA JULY 7
BAVUNAANIDDWA GWA KUBULANKANYA SSENTE EZIRI MU BUWUMBI
Okusinziira ku mpaaba, Bukedde gye yalabyeko eriko omukono gwa Kaliisoliiso;
l Aisha Naluzze Batala, bamulumiriza Obore okubulankanya 5,253,100,000/- wakati wa 2023 ne 2026.
l Daniel Adilo kigambibwa nti wakati wa 2023 ne 2026 ng’akulira abakozi yabulankanya 14,608,613,150/-
l Ye Leonard Okema naye bamulumiriza okubuzaawo 3,489,400,000/- wakati wa 2023 ne 2026 we yabeerera nga y’addukanya ofiisi ya Sipiika wa Palamenti.
l Obore ng’ali wamu ne Okema, Adilo, Rajab Kaaya, Otebata ne Murebe kigambibwa beekobaana ne beewa ssente eziwera 10,893,071,150 nga bakimanyi bulungi nti ziri mu bumenyi bw’amateeka.
l Otebata nga yeeyambisa ekifo kye ekya capacity Development Officer kigambibwa nti yabuzaawo 5,253,100,000/-.
l Rajab Kaaya nga Principal Research Officer owa Palamenti kigambibwa nti yabulankanya 2,170,108,000/-
Ensonda zaategeezezza nti obujulizi Kaliisoliiso bwe yakung’aanya bwe baayaza amaka ga Among ne ofiisi ye ku Palamenti, gattako ofiisi y’akulira enzirukanya y’emirimu, Adolf Mwesige, n’akulira ebyensimbi, Patrick Kunobwa naye bonna tewali yagguddwaako musango.
OMUYIGGO GWATANDIKIRA KU AMONG
Okunoonyereza ku buli bw’enguzi ku Palamenti n’okwegaggawaza gwatandikira ku yali Sipiika Anita Among nga May 16, 2026.
Okuva olwo ebitongole ebinoonyereza okuli ekya Crime Intelligence, amagye, ofiisi ya Kaliisoliisi wa Gavumenti n‘ebirala baazingako amaka ga Among ag’enjawulo okuli; ag’e Nakasero, Kigo, Ntinda ne Bukedea ne baggyayo ebizibiti eby’enjawulo omwali n’emmotoka ez’ebbeeyi mukaaga okuli ne ya Rolls-Royce ebalirirwamu obuwumbi obusatu n’obukadde 500.
Palamenti yennyini nayo baagirumba ne babaako ebiwandiiko ebikulu bye baggyayo ng’ebimu biraga engeri abakozi gye babadde bafunamu ssente z’ekitongole mu ngeri eteri nnambulukufu.
Omuyiggo oluvannyuma gwadda ku bakozi ba Palamenti nga waliwo okwebuuza engeri abawera 319 gye baafunamu emirimu okuva mu 2021 nga tegisoose kulangibwa mu kyapa kya Gavumenti (Gazzete) n’empapula z’amawulire nga bwe kirambikiddwa mu tteeka. Baakoma okulanga mu 2016.