Amawulire

ABANTU abettima balumbye ekiraalo ky'omutuuze e Luweero ne batemaatema n'okufumita ente ezisoba mu 30 n'embuzi 10

ABANTU abettima balumbye ekiraalo ky'omutuuze e Luweero ne batemaatema n'okufumita ente ezisoba mu 30 n'embuzi 10

Emmere eyatameddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU abettima balumbye ekiraalo ky'omutuuze e Luweero ne batemaatema n'okufumita ente ezisoba mu 30 n'embuzi 10.

Bibadde ku faamu ya Betty Nabukenya ku kyalo Kaswa mu Ggombolola y'e Kamira e Luweero , abantu bwe balumbye ekifo ne batuusa ebisago ku bisolo, naye nga kisuubirwa nti kubadde kuwolera ggwanga olw'enkayana z'etteka.

Balumiriza Bawona Ssuka , Ali Kakooza n'abalala abatuuze b'e Namuningi, okubeera amabega w'ekikolwa kino.

Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Twiineamazima, agambye nti , omuyiggo gugenda mu maaso era n'alabula abantu okukomya okutwalira amateeka mu ngalo.

Tags: