Amawulire

RDC we Wakiso Justine Mbabazi atabukidde abakozesa obubi entobazi

RDC wa Wakiso, Justine Mbabazi atabukidde abakulira ebyentobazi ku disitulikiti ye Wakiso olw’okwesulirayo ogwa naggamba ng’abantu ab’enjawulo baziyiwamu ettaka nebatuuka n’okuzimbamu.

RDC ng'atabukira abakozesa obubi entobazi
By: Ssaava Peter, Journalist @New Vision
RDC wa Wakiso, Justine Mbabazi atabukidde abakulira ebyentobazi ku disitulikiti ye Wakiso olw’okwesulirayo ogwa naggamba ng’abantu ab’enjawulo baziyiwamu ettaka nebatuuka n’okuzimbamu.
 
Mbabazi okutuuka okutabukira bano, yakoze ekikwekweto eky’amangu nga tabategezezaako oluvannyuma lw’okutegezebwa nti waliwo entobazi 4 eziyiriddwamu ettaka okumala ebbanga lya mwezi Mulamba.
 
Yategezezza nti kyewunyisa okuba ng’entobazi ezaayiriddwamu ettaka ziri ku kkubo abakozi bano webayita nga bagenda okukola emirimu, kyokka nebatafaayo kumutegeeza wadde okutegeeza poliisi.
RDC we Wakiso ng'atabukidde abakozesa obubi entobazi

RDC we Wakiso ng'atabukidde abakozesa obubi entobazi

 
“Abantu bangi besenzezza mu ntobazi mu bumenyi bw’amateeka era abamu n'ettaka baliyiwa misana ttuku, obunafu buno buvudde ku bakulira eby’entobazi ku disitulikiti okutuula obutuuzi mu ofiisi abamu nebatuuka n’okukola ebbaluwa eziwa abonoona entobazi ebbeetu.” Mbabzi bweyayongeddeko.
 
Bweyabadde akyalambula, yegattiddwako akulira eby’entobazi mu disitulikiti, Veronica Nalunga era ng’ono Mbabazi yamukunyizza kulwaki takola lipooti nagiwa akakiiko k’ebyokwerinda mu disitulikiti nekakola ebikwekweto.
 
Nalunga mukuddamu, yategezezza Mbabazi nti ebikwekweto ayagala okubikola kyokka nti oluusi alemesebwa olwa poliisi obutabaawo kumuyambako. Kino kyawakanyiziddwa DPC wa Wakiso Esther Kiiza nabuuza Nalunga ddi lweyasaba abaserikale nebatabamuwa, eky’okuddamu nekimubula.
 
Mbabazi yasokedde ku kyalo Sserinnya ku luguudo lwe Hoima ng’ogenda kutuuka e Kakiri, weyasanze bayiye ettaka ku kkubo kwennyini era mukubuuza nebamutegeeza nti nannyini mafuta ga Emma Oil (agalilanye webayiwa) nti yali mukuyiwawo.
Abazimba mu ntobazi RDC abatabukidde

Abazimba mu ntobazi RDC abatabukidde

Yeyongeddeyo e Nkoowe nawo weyasanze nga abayiwa ettaka era nga bali namukuzimbawo Kayumba era wano abakozi abaasangiddwawo bonna nebakwatibwa. Baamutegezezza nti ayiwawo yali mubaka okuva mubuvanjuba bw’eggwanga.
 
Olutobazi olulala Mbabazi lweyagenzeeko lwabadde ku kyalo Lukwanga, gyeyasanze nga bayiye kumpi yiika 5 kyokka wano ab’ebyentobazi nebamukweka omuntu omutuufu ayiwawi wadde nga abatuuze baategezezza nti ayiwawo bamulaba nnyo mu mmotoka za disitulikiti.
 
Olutobazi olulala Mbabazi lweyagenzeeko luli Kasengejje mu Wakiso, ng’eno nayo baayiye yiika ezisukka mu 5 nga batandise n’okusiba amayinja g’ekikomera. Baamutegezezza nti nannyini kkampuni ya Sanyuka waragi (eriranye ekitoogo) nti yayiwawo era ayagala kugaziwa.
 
Mbabazi yategezezza nti agenda kuwandikira pulezidenti Museveni alipoota amunnyonnyole engeri entobazi gye zisanyiziddwawo ssaako abamu ku bakozi obutafaayo ate abalala nebasalawo kuyamba ku bazimalawo.
Tags: