ABANTU abettima balumbye ekiraalo ky'omutuuze e Luweero ne batemaatema n'okufumita ente ezisoba mu 30 n'embuzi 10.

Balumiriza Bawona Ssuka , Ali Kakooza n'abalala abatuuze b'e Namuningi, okubeera amabega w'ekikolwa kino.
Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Twiineamazima, agambye nti , omuyiggo gugenda mu maaso era n'alabula abantu okukomya okutwalira amateeka mu ngalo.