POLIISI mu kitundu ky'e Katonga omuli Mpigi, Butambala ne Gomba, etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezident, eky'okusengula bonna abeesenza mu kibira kya Nsowe Central Forest reserve.
Mu lukungaana olwakubiriziddwa amyuka katikkiro ow'okubiri , Hon Crispus Kiyonga, era nga lwetabiddwako amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, akulira ISO, abatuuze n'abakungu abalala, abasenze babasabye okuvaamu mu mirimbe nga tebasindikiriziddwa.
Agasseeko nti poliisi bagisabye okuggulawo fayiro eri buli muntu anabeera yemulugunya mu kiseera ky'okubasengula era nga poliisi n'amagye, bakubeerawo nga bawa obukuumi okulaba ng'abatuuze basengulwa mu mirembe