Amawulire

Poliisi mu bitundu by'e Katonga etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti eky'okusengula abaasenga mu ntobazi

POLIISI mu kitundu ky'e Katonga omuli Mpigi, Butambala ne Gomba, etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezident, eky'okusengula bonna abeesenza mu kibira kya Nsowe Central Forest reserve. 

Poliisi mu bitundu by'e Katonga etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti eky'okusengula abaasenga mu ntobazi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI mu kitundu ky'e Katonga omuli Mpigi, Butambala ne Gomba, etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezident, eky'okusengula bonna abeesenza mu kibira kya Nsowe Central Forest reserve.

Mu lukungaana olwakubiriziddwa amyuka katikkiro ow'okubiri , Hon Crispus Kiyonga, era nga lwetabiddwako amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, akulira ISO, abatuuze n'abakungu abalala, abasenze babasabye okuvaamu mu mirimbe nga tebasindikiriziddwa.

Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Lydia Tumushabe, agambye nti abatuuze, babasabye okukolagana obulungi n'ebitongole ebikuumaddembe okulaba nga bavaawo mu mirembe.

Agasseeko nti poliisi bagisabye okuggulawo fayiro eri buli muntu anabeera yemulugunya mu kiseera ky'okubasengula era nga poliisi n'amagye, bakubeerawo nga bawa obukuumi okulaba ng'abatuuze basengulwa mu mirembe

Tags: