Bya Robinah Nantale
Munnassayansi akola eddagala ly'obutoonde David Ssenfuka atutte Andrew Mmwenda mu kkooti ng'amulanga okumulebula.

David Ssenfuka ng'alaga empapula
Agamba nti Andrew Mwenda yawandiika mu lupapula olumu n'awandiika mbu eddagala lya Ssenfuka ffu nnyo lyetaaga kunoonyerezaako kuba naye kennyini Mufere.
Kino kyadirira President Museveni okusisinkana David Ssenfuka n'amutegeeza nti eddagala lyeyavumbula erya Cancer ne sukaali Gav't egenda kulyeddiza likozesebwa mu malwaliro ga Gav't.

David Senfuka ng'alaga ekifaananye lyeyasisinkana pulezidenti Museveni
Senfuka agamba nti ebigambo bino byayonoona nyo erinya Lye ne ddagala lye nga kyekimuwaliriza okudukira mu court nga ayagala Mwenda amuliyirire obukadde 300 obwa Dolla.
Gyebuvudeko president Museveni yavaayo nakakasa nti eddagala lya Senfuka government ejja kuliteekamu sente era n'amusiima obuyiiya