OLUPAPULA lwa Bukedde lukyagenda mu maaso okukuleetera amawulire agakwata ku bumenyi bw’amateeka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Omuko guno ogutuumiddwa Omukessi wa Bukedde nga gwakufulumanga buli lunaku n’ekigendererwa ky’okukendeeza obuzzi bw’emisango.
ABANTU 6 abagambibwa okubbisa amajambiya nga batambulira ku pikipiki,bakwatiddwa poliisi e Kabowa. Mu kikwekweto kye kimu, pikipiki bbiri ezigambibwa nti baludde nga bazeeyambisa, nazo zizuuliddwa poliisi.
Kiddiridde ababbi 'okusalako' omusuubuzi omu e Kabowane bamunyagako ebintu nga June 29, 2026. Era ababbi abeebijambiya, baasazeeko omusajja ng'ali ne mwannyina Kironde zooni mu Ndeeba, ne babanyagako ensawo, essimu ne ssente kyokka mu kubuukira ppikippiki babulewo, abatuuze ne banywezaako omu Nasir Mutyaba ne bamukwasa poliisi e Kabowa.
ABAGAMBIBWA OKUBBA ABASUUBUZI E TORORO BABAKUTTE
ABANTU 15 abagambibwa okubba n'okutulugunya abatuuze n'abasuubuzi e Tororo, bakwatiddwa mu kikwekweto ky'abakuumaddembe. Kyakoleddwa mu ggombolola y'e Kwapa ne Molo mu munisipaali y'e Tororo. E Kwapa, kigam bibwa nti ababbi nga balina amafumu, enso, amajambiya ne ttooci, baasudde emisanvu mu kkubo ne banyaga, era eno baakwatiddeyo Emmanuel Onyango, Brian Orukani, Jacob Emurut ne Sam Akoit. Mu ggombolola y'e Molo, ababbi babadde bateega abantu naddala abava mu nnyimbe, mu bbaala ne bababba n'okubatuusaako ebisago era ng'eno baakwatiddeyo Nafutaali Okongo, Moses Okochili, Ivan Okudel, Silver Emongot, Isaac Okware, Peter Akolong, Derrick Odoi ne Richard Ochieng. Mu Tororo municipality, abakwatiddwa, kuliko Godfrey Ochieng, James Wakooli ne Isaac Mabonga. Bagguddwaako emisango gy'okubbisa eryanyi n'okutuusa ebisago ku bantu.
POLIISI E MBARARA EYIGGA ABAAYOKEZZA OMUSUUBUZI N'AFA
POLIISI e Mbarara, enoonyereza ku bantu abayinza okuba nga baateekedde edduuka ly'omusuubuzi omuliro ogumusse. Eyafudde ye Fred Tumusiime 55, ng'abadde abeera Nyakizi e Kakoba. Edduuka lye ery'ebyamasannyalaze libadde ku Bishop Wills ku luguudo lwa Garage Street mu kibuga Mbarara. Kigambibwa nti, Tumusiime yafiirwa mukyala we emyaka etaano egiyise ng'okuva olwo, alinga alikoekizibu.
Omwogezi wa poliisi e Rwizi, Samson Kasasira, agambye nti, Tumisiime bwe yategedde nti omuliro gukutte edduuka lye, engoye yazambalidde ku mugongo n'agenda okutaasa emmaali ye. Omuliro gwamwokerezzaayo ne bamuddusa mu ddwaaliro e Mbarara gye yafiiridde.
AGAMBIBWA OKUTTA MUKAZI WE E MOROTO, ABATUUZE BAMUSSE
OMUSAJJA agambibwa okulwana ne mukazi we n'amutta, abatuuze bamukubye ne bamuttirawo. Byabadde Nanyidik mu muluka gw'e Lobunet mu ggombolola y'e Rupa e Moro Balumiriza Loojo Ekorikor 40, okutta Clementina Namilo.
Kigambibwa nti abooluganda lwa Namilo nga bakulembeddwa Paul Pulkol olwakitegedde, ne basibira Ekorikor ku muti ne bamukuba okutuusa lwe baamusse. Omwogezi wa poliisi mu Mt. Moroto, Mike Longole, agambye nti, baakutte Paul Pulkol ayambeko mu kubuuliriza.