Amawulire

Bannayuganda abadduse e South Africa batandise okutuuka

BANNAYUGANDA 500 ababadde babeera e South Africa bamaze okukolebwako buli kimu ekyetaagisa nga balindiridde kulinnya nnyonyi olwaleero (Lwakuna) bakome wo mu ggwanga.

Omubaka wa Uganda e South Africa, Paul Amoru, asitudde omwana ng'ayogerako eri Bannayuganda abakung'aanidde e Pretoria.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BANNAYUGANDA 500 ababadde babeera e South Africa bamaze okukolebwako buli kimu ekyetaagisa nga balindiridde kulinnya nnyonyi olwaleero (Lwakuna) bakome wo mu ggwanga.

Kyokka ababadde n’obusobozi bw'okwegulira tiketi z’ennyonyi, baatandise okutuuka mu Uganda eggulo (Lwakusatu) okwetegula embeera ya bannansi ba South Africa embi gye babataddeko.

Eggulo Bannayuganda 44 baabadde bakyakwatiddwa nga baggaliddwa mu buduukulu bwa poliisi ez'enjawulo kyokka ng’abakungu ba Gavumenti ya Uganda balemeddeko nti bateekwa okubabawa nabo bakomewo mu ggwanga ng’abalala bwe bagenda okukomawo.

Omubaka wa Uganda e South Africa, Paul Amoru yagambye nti, ebitongole ebikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga mu South Africa ssaako aba Uganda abatuula mu ggwanga eryo, baatereezezza buli kiwandiiko ky’abantu 500 nti balindiridde kulinnya nnyonyi,.

Yagambye nti, balindiridde bakungu abakola ku nnyonyi ya Uganda Airlines babawe enteekateeka, abantu batandike okulinnya. Bannayuganda abasookerwako bakung'aanidde mu bifo bibiri okuli ekya Pretoria ne Johannesburg.

Akulira ekibiina ekigatta Bannayuganda abali e South Africa ekiyitibwa Convention of Ugandan in South Africa [COUSE] yagambye nti, abasoose okutuuka be beesasulidde era bazze ggulo.

Yategeezezza nti, aba Gavumenti abakoleddwaako buli kimu bagenda kwawulwamu emirundi ebiri okusinziira ku bunene bw'ennyonyi bw'egenda okuleeta nga bamaze okulung'amizibwa.

Amoru yagambye nti, ennyonyi egenda kusitula e South Africa mu ssaawaz’emisana etuuke ku kisaawe e Ntebe ku ssaawa 12:00 ez’olweggulo ate emale eddeyo ekime abalala okutuusa bonna 771 bwe banaggwaayo.

Bannansi ba South Africa batabuse ne bagoba abantu abatalina biwandiiko mu nsi yaabwe era baabawadde nga June 30 bonna nga bavuddeyo. Pulezidenti Museveni yabasasulidde

buli kimu n’abaweereza n’ennyonyi ya Uganda Air bakomewo. Ebifo we bakung'aanidde okuli Durban, Pretoria n’ebirala Gavumenti ebasasulira byonna bye bakozesa omuli emmere n’ebyetaagisa.

Ebibinja ebisasuliddwa okudda bitandika okutuuka ku kisaawe e Ntebe leero. Amoru yabuuziddwa ku bantu abakubiddwa, n’okukosebwa ssaako ababbiddwaako ebyabwe n'agamba nti, bagenda kubirondoola.

Tags: