POLIISI enoonya omuntu ow'ettima, atuze omwana ow'emyaka ebiri, omulambo gwe n'aguleka mu ntebe z'e Klezia.
Kigambibwa nti omulambo gw'omwana, gubaddeko enkwagulo mu bulago nga kirowoozebwa nti abaamusse , basoose kumutuga n'afa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti okusinziira mu kubuuliriza , omulambo gwalekeddwawo mukazi eyasoose okulya emmere, nti bwe yafulumye, teyakomyewo era nga mu kiseera kino, gukuumirwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mulago ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.