Amawulire

Chris Obore n'abalala 6 abaakwatibwa ku by’okubulakanya ssente mu palamenti ne leero bazzeeyo e Luzira!

Omulamuzi Esther Asiimwe owa kkooti ento ewozesa abali b’enguzi n'abalyake e Wandegeya agaanye okuwulira okweyimirirwa n’abagamba nti ogumu ku misango gye bavunaanibwa guwulirwa kkooti enkulu.

Chris Obore n'abalala 6 abaakwatibwa ku by’okubulakanya ssente mu palamenti ne leero bazzeeyo e Luzira!
By: Edward Luyimbazi, Journalist @New Vision

Omwogezi wa Palamenti, Chris Obore ne banne abalala 6 abaakwatibwa ku misango gy’okubulakanya ssente mu palamenti era baddiziddwayo mu kkomera e Luzira.

Omulamuzi Esther Asiimwe owa kkooti ento ewozesa abali b’enguzi n'abalyake e Wandegeya agaanye okuwulira okweyimirirwa n’abagamba nti ogumu ku misango gye bavunaanibwa guwulirwa kkooti enkulu.

Abagambye bakomewo nga July, 27, 2026 nga bwe balinda oludda oluwaabi okumaliriza okunoonyereza kwabwe ng'omuwaabi wa gavumenti Daisy Asio bwe yasabye.

Tags:
Chris Obore
Ssente
Palamenti
Uganda
Bantu
Kuddizibwayo Luzira