Amawulire

Basonze ez'ebyuma ebyabbibwa mu kkanisa

KATIKKIRO w'ekika ky'Emmamba, Gerald Kyobe Kaberenge asabye Bannaddiini okunnyikiza eddiini mu bantu bamanye nti ebintu ebikola omulimu gwa Katonda tebibbibwa!

Katikkiro w'ekika ky'Emmamba, Kaberenge (ku kkono) ng'akwasa David Muwenda cceeke ya 400,000/-.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KATIKKIRO w'ekika ky'Emmamba, Gerald Kyobe Kaberenge asabye Bannaddiini okunnyikiza eddiini mu bantu bamanye nti ebintu ebikola omulimu gwa Katonda tebibbibwa!
Yasinzidde mu kkanisa ya Apollo Kivebulaaya e Kiwuwa- Mityana mu Bulabirizi bwa Central Buganda ku mukolo gw'okusonda ensimbi z'okugula emizindaalo, okuzzaawo egyabbibwa mu May, ababbi bwe baamenya ekkanisa ne bakuuliita n'ebyuma byonna.

"Ebyuma bye tusonda bya bbeeyi era ku luno bisaana obukuumi obw'enjawulo naddala tekinologiya abirondoola yonna gye biba bitwaliddwa," Kaberenge bwe yasabye.
Rev. Isaac Kyabaggu eyabuulidde mu kusaba kuno yagambye nti, eyabba emizindaalo yali azibikira kigambo kya Katonda kyokka Katonda n'alaga amaanyi n'awa ssaabakunzi w'ekika ky'Emmamba, David Muwenda omukisa n'akunga abantu okusonda ebyuma.
Muwenda ng'era ye mumyuka w'omukubiriza w'Obusumba bw'e Kiwawu, yategeezezza nti yawaddeyo olunaku luno okwebalizaako Katonda olw'okumussuusa obulwadde, kwe kumwebaza ng'akunga abantu okuzzaawo emizindaalo.
Bajeti y'ebyuma ya 5,400,000/- ye yakoleddwa era Katikkiro Kyobe yawaddeyo 800,000/- okugula emizindaalo egikasuka amaloboozi, Semei Nsubuga 200,000/-, atwala eby'enkulaakulana mu Kika ky'Emmamba Nsubuga yawaddeyo 1,700,000/- n'abalala.
Omukolo guno gwabaddeko akatale k'amakungula akaavuddemu 447,000/- ate 1,230,000/- zaavudde mu bibbo

Tags: