POLIISI mu Kampala n’emiriraano ekoze ebikwekweto mw’ekwatidde abavubuka 69 abateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.
Abaakwatiddwa kigambibwa nti babadde bateega abantu naddala abava okukola ne babanyagako ebyabwe wamu n’okwenyigira mu kukommonta enjaga.

Abamu ku bavubuka abaayooleddwa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Rachael Kawala yagambye nti ebikwekweto bino byakoleddwa oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu bantu mu bitundu eby’enjawulo.
Yagambye, poliisi ya Kampalamukadde yasindise abaserikale baayo ne bakola ekikwekweto ku Musajjalumbwa ne Lubaga Road gye baakwatidde abavubuka 14.
E Mukono, poliisi yakoze ekikwekweto mu kitundu ky’e Kirangira n’ebitundu ebiriraanyeewo mwe yakwatidde abantu 23. Ebitundu mwe kyakoleddwa byebyo ebimanyiddwa okubeeramu abamenyi b’amateeka nga gye basinziira ne batigomya abantu n’okunywerayo enjaga.
Ate mu Kira Division, ekikwekweto kyakoleddwa mu bitundu okuli; Kireka, Kiganda, Namugongo era abavubuka 32 be baakwatiddwa. Yagambye nti ebikwekweto biyambye okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka mu bitundu.