EYALI sipiika wa Palamenti Anita Among byongedde okumwonoonekera, abanoonyereza ku misango gye bamalirizza okutegeka ffayiro omuli obujulizi
obumuluma era essaawa yonna atwalibwa mu kkooti.
Ensonda zaategeezezza nti ffayiro ya Among erimu obujulizi obuzito obwekuusa ku ngeri gy’azze yeegaggawaza n’okulya enguzi we yabeerera sipiika wakati wa 2022 ne May wa 2026.
Omwogezi wa ofiisi ya Kaliisoliiso, Ali Munira yagambye nti ffayiro ya Among ekolwako ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID. Abakozi ba Palamenti musanvu be baasooka okukwatibwa ku Lwokuna lwa wiiki ewedde ne basimbibwa mu kkooti ewozesa abalyake n’obukenuzi okuli; Daniel Adilo addukanya ofiisi ya sipiika, Leonard Okema ow’eby’okunoonyereza, Rajab Kaaya Ssemalulu avunaanyizibwa ku bagenyi Emmanuel Okwi, Vincent Otabeta (capacity development officer) n’avunaanyizibwa ku mirimu gya SACCO, Methods Murebe.
Abakwate baggulwako emisango gy’okweyambisa obubi ofiisi zaabwe ne babulankanya ssente z’omuwi w’omusolo eziri mu buwumbi era baasindikibwa ku limanda e Luzira, nga basuubirwa okukomawo mu kkooti olwaleero nga July 7, 2026.
EBIRI MU FAYIRO YA AMONG
Ensonda mu banoonyereza ku misango gya Among zaategeezezza nti, emisango gye gyekuusa ku gyaggulwa ku bakozi ba Palamenti. Obujulizi bwetooloolera ku ddiiru z’okunyaga obuwumbi nga kigambibwa nti Among abadde aziri wakati okuva mu 2023 okutuuka mu 2026.
Kigambibwa nti Among nga yeeyambisa ofiisi ye, aliko ssente z’abadde ayisa mu bakozi ba Palamenti nga beerimbise mu kugamba nti ziriko emirimu egiyamba ebitundu eby’enjawulo naye ng’ekituufu bagenda kuzezza.
Eno y’emu ku ngeri akulira ekitongole ky’ebyamawulire era omwogezi wa Palamenti, Chris Obore gye yabulankanya 5,253,100,000/- wakati wa 2023 ne 2026.
Waliwo ssente ezibadde ziyisibwa mu SACCO ya Palamenti olwo abakozi ne baziggyayo ne bazitwalira Among n’abawaako omutemwa. Okuyisa ssente mu SACCO kyakolebwanga kuba okuziggyayo kubeera kwangu okusinga ku akawunti ya Palamenti.
Kyokka waliwo abakozi abaawadde obujulizi eri abanoonyereza nga bagamba emirundi
egimu tebaalyangako nga bwe baziggya ku akawunti zaabwe, bwe zitwalibwa eri omukulu. Engeri Among gye yabasiimangamu ng’abawa eng’endo z’ebwerun okuli ensako ensava ne bakibalira awo naye nga tabawa ku munyago gwe baamuleeteranga. Among era bamulumiriza ku ngeri gye yayongeza ensako ya sipiika eya buli lunaku lw’abeera atambudde ku mirimu emitongole okuva ku doola 900 (3,300,000/-
) okutuuka ku doola 5,000 (18,700,000/-). Ensako y’omumyuka wa Sipiika nayo yalinnyisibwa okutuuka ku doola 4,500n (sh16,900,000/-). Eyali sipiika bamulumiriza okutwala ssente ng’alaze nti agenda kugendako mu nsi eziwera okumala ekiseera ekiwanvu kyokka n’atalinnyayo! Ensonda zaategeezezza nti yatambula eng’endo 25
ng’ezimu 7 yazitambula wakati wa September 6, 2023 ne January 29, 2024 mwe yafunira obuwumbi bubiri n’obukadde 600 ezaateekebwa ku akawunti ye obutereevu era ng’alaga nti yamala ennaku 164 ng’ali ku mirimu emitongole ebweru w’eggwanga.
Waliwo omulundi ogumu Among lwe yasasulwa obukadde 499 mu luwummula olw’ennaku 30 nga September 6, 2023. Waliwo ne lwe yafunako oluwummula omulala olw’ennaku 30 n’asasulwa obukadde 494. Waliwo lwe yagendako e Kigali mu Rwanda n’amalayo ennaku 7 n’asasulwa obukadde 106 n’olulala n’agenda e Italy ku bugenyi bw’ennaku 4 n’aweebwa obukadde 98.
Waliwo olugendo Among lw yagendako e Kenya n’amalayo ennaku 43 era n’asasulwa obukadde 653, ate lwe yagendako e South Africa ku bugenyi bw’ennaku 20 n’aweebwa obukadde 318.
Kigambibwa nti abamu ku bakozi ba Palamenti basuubirwa okweyambisibwa nga abajulizi ba Gavumenti nga balumiriza Among. Abanoonyereza baategeezezza nti baliko ekiragiro kye baafunye okuva ewa Pulezidenti nga kibalagira okusooka okukakasa
nga Among mulamu bulungi nga tannatwalibwa mu kkooti kuba waliwo ebizze byogerwa nti tali mu mbeera nnungi.
Emisango emirala egimuvunaanibwa mulimu obutalangirira ebimu ku byobugagga bye okuli ennyumba eri e Bungereza, ffaamu bbiri ezisangibwa mu kitundu ky’obukiikakkono n’ekizimbe kya Walusimbi’s Garage ekimu ku bigambibwa nti byasembyeyo okugula.
Mu tteeka lya Leadership Code Act, singa omukulembeze alemwa okulangirira ebyobugagga by’alina oba n’akendeeza omuwendo gwabyo, asobola okuweebwa ebibonerezo omuli; okusasula engassi, okugobwa mu ofiisi n’okubowa ebyobugagga ebyafunibwa mu bukyamu.
Mu 2024, Among n’abakungu ba Gavumenti abalala baawerebwa America ne Bungereza okuddamu okulinnyayo nga babalanga kwenyigira mu kulya nguzi n’ebikolwa ebirinnyirira eddembe ly’obuntu.
Bungereza yalumiriza Among nga bw’alina ennyumba mu kibuga London esangibwa ku Flat 4, Silk House, 7 Waterden Road. Kyokka Among yabyewakana n’ategeeza nti ennyumba eyogerwako si yiye era n’ebiwandiiko ebyalagibwa ng’agigula byali bijingirire.
Wabula waliwo abatunuuluzi abagamba nti Among emisango egimu ayinza okugiwuuta, naddala egya ssente kuba kiyinz okubeera okizibu okuzuula nti ssente ezoogerwa zaamutuukako, kuba abaaziggyangayo baabanga bantu balala, era nga be bagamba nti baazitwaliranga ye. Emisango gya ssente z’ensako nagyo asobola okugiwuuta kubanga
kisoboka okuba nga zaayisibwa akakiiko akavunaanyizibwa ate n’ezigambibwa nti yazifuna mu bukyamu waliwo abavunaanyizibwa okulaba nga ssente ezifuluma ze ntuufu ezirina okufuluma so si oli azifuna