EMYAKA 33 we giweredde ng’Obwakabaka bwa Buganda bulina amasomero n’amatendekero 36 ku mitendera egy’enjawulo.Kuno kuliko nnassale 20, pulayimale 10, siniya 3, amatendekero g’ebyemikono abiri (2) ne yunivasite emu (1).
Yunivasite eno erina n’ettabi e Kakeeka-Mmengo okumpi n’ekitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda.
Omukwanaganya w’ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Dr. Leticia Nakimuli agamba nti, balinamu okusoomoozebwa okw’obufunda bw’ensawo naddala evaamu ssente za bbasale z’abaana nga kuno kw’otadde n’abazadde abeesuulirayo ogwa nnaggamba ku kulondoola abaana baabwe mu masomero gye babeera babatadde ku bbasale.
Naye, baluubirira okwongera omutindo ku byenjigiriza n’okulaba ng’amasaza gonna gabuna amasomero g’Obwakabaka aga nnassale nga Kabaka bwe yalagira, kuba agamu nga Butambala, Ssese, Kyadondo n’amalala tegannagafuna.
Balina n’enteekateeka y’okussaawo ettendekero erisomesa ebyemikono ku ddaala lya dipulooma. Ye Nakate yagambye nti, waliwo enteekateeka essaawo ettendekero ly’ebyobulamu, nga lino lyakweyubula okuva mu Muteesa I Royal University.
Mu ngeri y’emu, ettabi lya yunivasite eno ery’e Kakeeka-Mmengo bagenda kulifunira ebizimbe eby’omulembe era nga baataddemu okusaba kwabwe kutunuulirwe mu mbalirira y’Obwakabaka ey’omwaka ogujja.
Mu byonna ebikolebwa, Nakate agamba nti, Ssaabasajja ali mu kuddaabulula byanjigiriza ng’alambikibwa omumuli gwa jjajjaawe Ssekabaka Muteesa I eyawandiika ebbaluwa mu 1875 ng’asaba Nnaabakyala Victoria owa Bungereza okuleeta enkulaakulana mu Buganda okwali ebyenjigiriza, ebyobulamu, eddiini n’ebirala.