Amawulire

Bukedde Pass PLE Mock ajjumbiddwa

EBIGEZO bya MOCK wa Bukedde bikomekerezebwa leero n’ekigezo kya English, abayizi n’abasomesa ababikoze batenda omuntindogwabye.

Omusomesa ku Mugongo P/S nga yeetegereza abayizi bwe baabadde bakola ekigezo kya Science eggulo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EBIGEZO bya MOCK wa Bukedde bikomekerezebwa leero n’ekigezo kya English, abayizi n’abasomesa ababikoze batenda omuntindogwabye.

Ebigezo bino byatandika ku Mmande nga buli kigezo ekibadde kikolebwa ng’enkeera Bukedde afulumya answer zaakyo okuyambako abasomesa n’abayizi okubiyitamu.

Leero Bukedde akuleetedde ekigezo kya English ne answer z’ekigezo kya Intergrated Science ekyakoledde ku Lwokusatu nga zo answer za English zaakufumizibwa mu Bukedde wo Lwokutaano.

Avunaanyizibwa ku by’okutunda n’okusaasaanya amawulire mu kkampuni ya Vision Group, Bruce Byaruhanga yeebazizza amasomero gonna ageetabye mu kukokola ebigezo bino n'ategeeza nga Bukedde bw'ekyagenda mu maaso n’okuteekateeka abayizi ba P.7 ng’eyita mu katabo ka Pass PLE afuluma buli Mmande ne Lwokuna.

Byaruhanga yannyonnyodde nti, ebigezo bino biteekeddwateekeddwa abasomesa abakugu, abalina obumanyirivu nga bigendereddwaamu okuyamba abayizi ba P7, okweteekerateekera obulungi Mock entongole n’ebigezo bya PLE eby'akamalirizo mu November omwaka guno.

Yagambye nti, kumulundi guno amasomero gongedde okujjumbira ebigezo bino, ekiyam bye abasomesa n’abayizi okumanya obunafu bwabwe. Ku ssomero lya Gavumenti erya Mugongo P/S Kyengera mu disitulikiti y'e Wakiso, alikulira Margret Mwesigwa yategeezezza nti ebigezo biyambye abayizi baabwe okwekwebera n’okumanya engeri y’okwanukulamu ebibuuzo nga basinziira ku answer ezi fulumirako.

Yakunze abakulu b’amasomero okwekwata olupapula lwa Bukedde olwa Mmande ne ku Lwokuna omufulumira Pass PLE, okweteekerateekera obulungi ebigezo bya PLE.

EMIGAASO GY’EBIGEZO BINO

    • Biyamba abayizi n’abasomesa okuyiga engeri ebigezo gye biteekebwateekebwamu.
    • Biyamba abasomesa n’abayizi okuzuula aweetaaga okwongerwa  amaanyi.
    • Biyamaba abayizi okweteekerateekera ebigezo eby’akamalirizo
Tags: